Entiisa ebuutikidde abayizi b’essomero lya Grammer School mu Bungereza muyizi munnaabwe ategeerekese nga Grace Ford 17 bw’avudde waggulu ku kikomera n’afa.
Grace ne muganzi we Edward Soppet baatolose ku ssomero ne bagenda okwesanyusaamu. Nga tebannagenda mu bbaala kwewaamu baasoose kupangisa loogi mwe banaasula. Mu bbaala baaluddeyo nnyo era bwe baatuuse omukuumi n’abategeeza nga bwe batasaanye kusula bombi.
Bakkirizza buli omu n’agenda gy’alina okusula wabula mu matumbibudde, Grace omukwano gw’amulinnye n’asalawo okuwalampa olukomera olwabadde lw’awula loogi mwe baasuze asobole okusisinkana Edward.
Eno gye yawamattuse n’agwa wansi n’afiirawo.
Eno gye yawamattuse n’agwa wansi n’afiirawo.
Afudde atoloka kugenda wa muganzi we