TOP

Ebiraga omukazi atayagala kwegatta

By Musasi Wa

Added 4th October 2011

Omusajja okwegatta ne munno mu mukwano nga nnabukalu manya nti obeera omuwalirizza okubeera naawe, kuba obwongo bwe buba tebwetegese era nga by’okola tabyagala lwa kusirika.

Omusajja okwegatta ne munno mu mukwano nga nnabukalu manya nti obeera omuwalirizza okubeera naawe, kuba obwongo bwe buba tebwetegese era nga by’okola tabyagala lwa kusirika.


Naawe omukazi agamba nti balo tayaka, genderera engeri gy’omukwatamu, wandiba ng’okaka mukake ky’ava atuusa oluwalo. Omuntu gw’oyagala nga naye akwagala omutunulako butunuzi n’ocamuka.

Abaagalana abamu naddala abasajja bakaka abaagalwa baabwe omukwano. Lwakuba abakazi bangi kino tebakitwala ng’ensonga, ne batuuka n’okulowooza nti osanga be balina obuzibu.

Wiiki ewedde, Bukedde yafulumizza amawulire g’omukazi Agnes Nantukunda eyatutte bba Joseph Isabirye ku poliisi y’oku Kaleerwe ng’amulumiriza okumukaka akaboozi.

Nantukunda agamba nti bba aludde ng’amukaka akaboozi naye ng’aguma ng’omukazi.
Ekyasinze okumuggya mu mbeera kwe kuba nga kati ali lubuto lwa myezi musanvu kyokka era bba ayagala beegatte.

OMUSAJJA AKAKA ATYA MUKAZI WE OMUKWANO?

Dr. Rev. Matovu kansala mu  bw’obufumbo e Naalya, agamba nti okukaka munno omukwano kitegeeza okunyumya akaboozi nga munno takkirizza n’okumukozesaako amaanyi okusobola okutuukiriza ekigendererwa kyo.

Waliwo embeera ezitali zimu eziyinza okuleetera munno obutayagala kwegatta kyokka omulala n’amukaka akaboozi asobole okwesanyusa.

Agamba nti kino kibaawo singa abafumbo bafuna obutakkaanya kyokka omu n’akozesa akaboozi ng’engeri y’okuzzaawo omukwano oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.

Embeera eno etera kuba ku basajja abalowooza nti singa omukazi weegatta naye byonna ebibadde bimunyiizizza we bikoma n’abyerabira omukwano ne gudda buggya.

Waliwo abasajja abakozesa engeri etiisatiisa nga beegatta n’abaagalwa baabwe. Abamu babakwata emikono n’aba nga talina w’agaanira, ate abalala, ayinza n’okuggyayo ekissi olwo omukwano ne bagusinda ku mpaka.

Okuvumbiikiriza munno nga si byaliko naddala nga yeebase ggwe n’otandika kukola bibyo n’awo oba omukutte bukwasi.

EBIVAAKO OKUKAKA AKABOOZI:

Obuwangwa n’amadiini agamu biwa abasajja enkizo ku mukazi. Kino bakikozesa okwekkusa nga tebafudde ku kiki mukyala we ky’awulira.

Olw’okuba omusajja asobola okuba n’abakazi abasoba mu omu, abakazi abasinga ne bwe bakakibwa akaboozi tebavaayo kwekubira nduulu nga batya okufiirwa obufumbo bwabwe.

 Abasajja balowooza nti balina okwegatta ne bakazi baabwe ekiseera kyonna era mu mbeera zonna okusobola okukakasa obusajja bwabwe.

Abamu balina endowooza nti omukazi bw’agamba nti nedda, abeera yeeyisaako ng’ayagala era ekyo tebakifaako okuggyako okukola kye baagala.

Abalala balowooza nti omuntu singa anywegera n’okuweeweeta munne abeera akkirizza okwegatta era ne bw’omugamba nti toyagala, kizibu okuwuliriza.

Okulowooza nti ebibaawo wakati w’abafumbo tebirina kukwata ku muntu mulala yenna, okuggyako abaagalana ababiri.

Obuwangwa n’ebitabo by’eddiini ebisinga biraga ng’omukazi alina okusanyusa bba mu mbeera yonna era alina kuba wansi wa bba. Kino kireetera abakazi okukkiriza okwegatta wadde baba tebaagala.

Obwavu obuyitiridde nabwo buvaako omukazi oluusi okwetamwa bba n’okwegatta nga tayagala kuzaala baana b’ataalabirire.

EBIZIBU BY’OKUKAKA OMUKWANO:

Okukaka akaboozi y’emu ku nsonga ezivaako okusaasaana kw’obulwadde bw’obukaba ne siriimu. Kino kiva ku kukuluusanyizibwa mu bitundu by’ekyama ekyanguyiza obulwadde okusaasaana nga buyita mu mabwa.

Okukozesa amaanyi agayitiridde ku mukazi ng’omukaka akaboozi, singa aba lubuto luyinza okuvaamu, n’okufuna obuzibu obulala.

Kivaako obwenzi mu maka, oluusi ng’omukazi anoonya omusajja anaanyumisa omukwano.

BYE MULINA OKUKOLA:

Okusookera ddala kirungi buli omu n’ayiga munne olwo mujja  kwewala omu okukaka munne akaboozi kuba omanya embeera gy’alimu.

Singa munno aba akukase okwegatta naye, funa omuntu gwe weesiga oyogereko naye, okukuyamba okukyerabira n’okukuwa amagezi ku ngeri gy’osobola okukyewalamu.

Musobola okukyogerako mwembi naddala nga kyakatandika munno n’amanya nti ky’akola tekikusanyusa era ne mukisalira amagezi okusinga okukirinda ne kirwawo kubanga ayinza okulowooza nti waliwo ensonga endala.

Bwe kigaana ng’olaba kigenda mu maaso wadde mukyogeddeko, kirungi osooke oyogere n’abakulu naddala ssenga n’abeng’anda abalala ku nsonga eno nga tonnabitwala mu b’obuyinza.

Wabula bw’aba ng’akugwa mu bulago ng’ayagala kukutuga oba okukozesa amaanyi amangi, tolinda. Genda mu bitongole ebibuulirira abafumbo bikuyambe. Bwe kigaana genda ku poliisi kuba obulamu bwo buba mu matigga.

 

Ebiraga omukazi atayagala kwegatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Laddu esse abaana babiri: Babadde...

Laddu esse abaana babiri: Babadde bagenze mu nnimiro

Thumbnailpochettinoworried 220x290

3 baswamye mulimu gwa Pochettino...

Emikisa gya Mauricio Pochettino okusigala ku butendesi bwa Tottenham (Spurs) buli lukya gikendeera.

211779580imagea231574118715434 220x290

Rafa Benitezi yandidda mu Premier...

AGAVA mu West Ham galaga nga bwe waliwo entegeka y’okukansa omutendesi Rafa Benitez asikire Manuel Pellegrini....

Nkumbaweb 220x290

Nkumba ekikoze n'era

Ttiimu ya Nkumba university ewangudde ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogw'okusatu ogw'omuddiring'anwa....

Crestedweb 220x290

Ey'abakazi emaliridde okwesogga...

Crested Cranes, ttiimu y'abakazi ey'omupiira, ewera kufiira ku Ethiopia yeeyongereyo mu za CECAFA Women Challange...