TOP

Ssenga nkole ntya okumusanyusa?

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2011

SSENGA gyebaleko, omusajja yaηηambye nti simusanyusa mu buliri. Kati nkole ntya? Mbadde bulungi era nga mbeera n’abasajja naye teri yali akiηηambye.

Ssenga1 703x422

Mwana wange okusookera ddala, omuntu yenna ky’akugamba tolina kukigendeerako. Waliyo abantu nga baagala kulemeesa mbeera oba kukweggyako. Kale n’akugamba ekisembayo gwe okiveeko.

Embeera eyo eremesa abantu bangi okukola oba okubeera kye baagala. Abasajja abamu bw’ayagala okweggya ku mukyala ng’amugamba ebintu ebimalamu amaanyi ng’ekyo, asobole okumweggyako.

Ekirala, asobola okukugamba bwatyo ng’ayagala awulire ky’omuddamu.

Kati naawe olina okumuddiza n’omubuuza ky’ategeeza. Era omugambe nti oba ayagala omusanyuse olina kukola ki?

Oyinza okwesanga nga talina ky’akudamu. Noolwekyo toggwaamu maanyi na ssuubi.

N’ekirala, buli musajja wa njawulo mu kimusanyusa. Era ng’abakyala bwe tuli nti buli mukyala ekimusanyusa kya njawulo.

Kale ono oba tomusanyusa ogenda kufuna gw’osanyusa. Naye olina n’okwegendereza ddala omusajja ono akwagala oba akukozesa.

Kubanga omusajja akwagala tasobola kuteekawo mbeera eno. Alina kukugamba bulungi mu mukwano bw’obeera n’ekizibu mu kwegatta.

Naye ono ayagala kukweggyako kwe kukozesa ebigambo ebinaakugoba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.