TOP

Baze munene nnyo! Takyantuuka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2010

OMWAMI wange munene muzibu ate nange ndi munene. Kati okwegatta kifuuse kizibu gye tuli. Okusookera ddala okutuuyana, ekirala tukoowa mangu ate obusajja bwe butono tebuntuuka bulungi.

Ssenga1 703x422

Tukoze tutya okunyumirwa? Omugejjo oba oli musajja oba oli mukyala oba oli mwana mubi nnyo. Omugejjo kitegeeza nti toli mulamu oba mu maaso eyo ogenda kulwala.

Okufuna emirembe mwembi mulina okulaba nga mukendeeza ku mugejjo. Ate tekigenda kuyamba bulamu bwammwe obw’okwegatta bwokka, wabula n’obulamu bwammwe mu mbeera eya bulijjo.

Omuntu yenna alina sayizi gy’alina okubeerako era abasawo bagiyita BMI. Kati bw’ogenda ew’omusawo akupima obuzito n’obuwanvu n’afuna BMI.

Era asobola okukugamba nti okusinziira ku buzito n’obuwanvu olina okubeera mu sayizi bw’eti. Ate waliyo okubeera omunene naye nga weesobola.

Kale ekikulu kye mulina okukola kulya mmere ennungi ng’ebibala, eva endiirwa ate n’okwewala sukaali omungi, omunnyo omungi era n’ebintu ebirimu amasavu ng’ennyama.

N’ekirala kiba kirungi n’okozesa omubiri mu dduyiro oba okutambula oba okukola emirimu egy’awaka. Abantu bangi tebakozesa mibiri ne ginafuwa era nga n’endwadde kiba kyangu okuzifuna.

Mugende ew’omusawo abayambe ku nsonga eno omugejjo si mulungi. Okunyumirwa mulina kukendeeza ku bunene mubeera nga mwesobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...