TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo bwa laavu bw'otalina kubuusa maaso

Obukodyo bwa laavu bw'otalina kubuusa maaso

By Musasi Wa

Added 14th February 2012

OKUBEERA mu mukwano n’okugufunamu ebirungi olina okuguyiiyiza okusobola okuguzza obuto n’okuguwangaaza.

OKUBEERA mu mukwano n’okugufunamu ebirungi olina okuguyiiyiza okusobola okuguzza obuto n’okuguwangaaza.

Ebintu ebimu bwe mubidding’ana ekiyitiridde mu mukwano bitama. Kino oluusi kivaako okubaliga nga buli omu anoonya ekipya.

Omuntu yenna bw’aba ayagala munne afuba okulaba ng’akola ebintu ebimusanyus okusobola okukuuma omukwano gwabwe nga gubanyumira.

Ku lunaku nga luno olwa Valentayini buli omu yandifubye okuyiiyaayo ekipya okuzza omukwano obuggya.Ekisinga obukulu kwe kuba omwanjulukufu eri munno.

Mubuulire ky’oyagala kuba kimuyamba okukutegeera obulungi, era akole ebyo by’oyagala era osiime.

Ensonga z’olunaku luno eri abaagalana zitera kuggweera mu kisenge nga mwesanyusa. Era eno y’ebeera entikkoyaalwo.

Okukifuula eky’enjawulo, ku luno tegeka ekifo ekirala gye muba mwesanyusiza muleme kubeera mu kisenge nga bulijjo.

Musobola ku luno okwesanyusiza mu mmotoka, mu ffumbiro, mu kinaabiro, mu ddiiro oba awantu wonna awalala awanaanyumisa omukwano mwawukane ku bya bulijjo.

Ate ku ludda lw’omukyala, kirungi nga munno tannakukwatako, osooke omukookoonye kyongere okumussa mu muudu. Gera nga muli eyo gye mugenda okwesanyusiza, otandike okuggyamu engoye lumu ku lumu nga bw’ozinira mu maaso ge, wabula nga tomukkiriza kukukwatako. Kino kijja kwongera okumuteeka mu muudu era mu bbanga ttono ojja kulaba nga ky’omusaba ky’akola.

Yiiyaayo sitayiro empya naddala gye mubadde temugezangako, mujja kunyumirwa era olunaku luno lujja kubasigala mu birowoozo.

Olunaku lw’abaagalana lwa kulaga mukwano. Munno muyiiyize ebinaamusanyusa okusobola okukuuma omukwano gwammwe.

Bwe mutandika okunyumya akaboozi, omukazi osobola okusalawo okwebegerako naddala ng’obade totera kukikola. Kino munno kijja kumusanyusa era ategeere nti naawe obadde omwetaagira ddala.

Ate okusobola okunyumirwa obulungi nga ggwe okutte enkasi munno mumalireko obuzito bwonna ajja kunyumirwa. Kyokka ate oyinza okwefuula atalina ky’amanyi n’osaba munno akuyigirize engeri gye banyumyamu akaboozi.

Ate naawe gwe basabye omulimu gukole bulungi, ojja kulaba nga mwembi munyumirwa.

Omukyala bw’olaba nga
munno aluddewo okumalamu akagoba sso nga ggwe oyidde, yisa engalo ku nsawo w’amagi mpolampola, ojja kulaba mu ddakiika ntono ng’atuuse ku ntikko y’omukwano.

 

Obukodyo bwa laavu bw''otalina kubuusa maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...