TOP

Weezigule bulungi odde buggya

By Musasi Wa

Added 14th February 2012

ABAKYALA n’abawala abamu olunaku lwa Valentayini lubaleka mu maziga olw’abaagalwa baabwe okubayiwa.

ABAKYALA n’abawala abamu olunaku lwa Valentayini lubaleka mu maziga olw’abaagalwa baabwe okubayiwa.

Omukyala akyayiddwa atera okwesalira omusango ng’alowooza nti osanga waliwo ky’atatuukirizza ekireetedde munne okuwuguka n’agenda n’omulala.

Okwewala bino byonna, omukyala ateekwa okwerongoosa mu ngeri ey’enjawulo munne amutunuleko ng’alaba asaanidde
okucakala naye ku Valentayini.

Fuba okulaba ng’ebitundu by’omubiri byo byonna birabika bulungi. Bw’oba bulijjo enjala z’engalo n’ebigere tozifaako, ku luno zizigule, kuba teri musajja ayagala kutambula na mukazi alina masanda mu ngalo.

Ate tokoma ku kuzisiiga kwokka, kirungi engalo zonna okutwaliza awamu ozikoleko zisobole okugonda obulungi, munno
omukwateko nga naye anyumirwa.

Enviiri nazo tozisuulirira. Ne bw’oba ng’olina omusono gwe wasiba ng’osuubira kugumazaayo emyezi ebiri, ku luno guggyeeyo
osibe omupya, munno asobole okukutunulako ng’oli mupya.

Akawoowo tokeerabira. Ne bw’onooyambala n’onyuma kyokka nga teweekubye kawoowo munno tajja kusikirizibwa bulungi. Ate akawoowo tekikwetaagisa kwekuba kawunya nnyo, funa akasaamusaamu.

Bw’oba nga bulijjo teweekolako, fuba ku luno okukyusaamu.

Omukyala nga yeekolako. Weekoleko osanyuse omwagalwa wo.

Bwe muba baakucakalako ne munno, weekoleko osobole okwaka, wabula ate weewale okuyitiriza. Yambala olugoye olukunyumira olyoke otambule ne munno nga naye asanyuse, ojja kulaba

Weezigule bulungi odde buggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe