TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Omwenge omungi gumalamu amaanyi g’omu kisenge’

‘Omwenge omungi gumalamu amaanyi g’omu kisenge’

By Musasi Wa

Added 22nd February 2012

OMWENGE kye kimu ku bintu abaagalana bye beeyambisa okufuna muudu ebayamba nga bammeggana mu bigwo by’ekikulu.

OMWENGE kye kimu ku bintu abaagalana bye beeyambisa okufuna muudu ebayamba nga bammeggana mu bigwo by’ekikulu.

Omukugu mu ndwadde z’abakyala, Dr. Dennis Kinene ow’omu Kampala agamba nti omwenge ssi ddagala eryongera amaanyi g’omukwano, kyokka nti gulimu ekirungo ekiyitibwa ‘Ethanol’ ekitamiiza nga kiyitira mu musaayi okutuuka mu bwongo.

‘Omuntu bw’atamiira, awulira essanyu, aggwaamu ensonyi acamuka wamu n’okufuna amaanyi g’atafuna nga tanyweddeemu. Omuntu ow’ekika kino atandika okulaba nga byonna byangu era bisoboka.

Bw’atuuka mu mbeera eno, n’obwagazi bw’okwegatta bweyongera n’awulira ng’alina amaanyi ag’enjawulo”, Kinene bw’annyonnyola.

Agattako nti wabula omwenge gwe gumu naddala bwe guyitirira ginafuya omuntu n’atuuka mu mbeera y’obutasobola kubaako kye yeekolera, era bw’atuuka mu buliri atandikirawo kufuluuta okukeesa obudde.

N’olwensonga eno, Kinene  agamba nti si kya magezi kukozesa mwenge ng’ekimu ku bintu ebikussa mu muudu y’omukwano, kuba kino bw’okyemanyiiza otuuka ekiseera eby’omukwano ne bikulemerera.

Wabula omwenge omusaamusaamu gutambuza ebintu bya laavu.

Abaagalana nga bali e Busaabala gye buvuddeko.

‘Omwenge omungi gumalamu amaanyi g’omu kisenge’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...