TOP

Gwe nafunye annaazizzaako ennaku

By Musasi Wa

Added 8th March 2012

NZE Irene Nakibuuka, mbeera Nabweru. Omusajja gwe nafuna amponyezza abafere ba laavu.

NZE Irene Nakibuuka, mbeera Nabweru. Omusajja gwe nafuna  amponyezza abafere ba laavu.

Nasooka ne nfuna omusajja eyali antamizza ebintu bya laavu era nga buli musajja ankwana ndabira ddala nga muyaaye.

Omusajja ono yali alabika bulungi nga mu butuufu bw’omulabako toyinza kugaana kyakusaba. Yali akola omulimu nga gwabuvunaanyizibwa era yansuubiza ebintu bingi omwali n’ekyokunkolera bizinensi ntandike okukola.

Teyakoma awo wabula yansuubiza n’ekyokumutwala mu bakadde bange mmwanjule mu butongole olwo ne ndabira ddala nga ye nnamba yange kuba buli kye yang’amba nga ndabira ddala agenda kukituukiriza. Natandika okumubuulira buli kyama kye nnali nnina n’okumwanjulira abamu ku beng’anda zange.

Wabula bino byonna byakoma ku munaabo oluvannyuma lw’omusajja ono okunneefuulira. Yatandika okunneebalama nga buli lwe mmukubira tusisinkane nga yeekwasa ensonga ezitaliimu. Bwe nagendanga ewuwe ng’alaga nti tandiiko era ng’ensonga ze twali twogerako takyazinyegako.

Twamala ebbanga nga tetukyakwatagana era bwe nnalaba ng’omusajja nninga amwesibako kwe kumwesonyiwa.

Wabula Katonda nga bw’atalya nguzi yayanukula essaala zange era gye buvuddeko nafuna omusajja omulala ammazeeko ennaku yonna. Mu kiseera kino tuli mu kuteekateeka kugenda kukyala waffe.

Gwe nafunye annaazizzaako ennaku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu