TOP

Mbasaba Yusufu mumuwe ggaapu

Added 4th January 2013

TERI kinnuma nga bawala kwesiba ku musajja wange gwe bamanyidde ddala nti mufumbo.

TERI kinnuma nga bawala kwesiba ku musajja wange gwe bamanyidde ddala nti mufumbo.    

Nze Prossy  Nassanga, mbeera Lugazi. Yusufu ye musajja gwe nnalonda mu bangi ne mmuwa omutima gwange. Kati myaka ena nga ngamutokoseza era mu kiseera kino tulina omwana omu.

Okumufuna yali nteekateeka ya Katonda kubanga twamala ebbanga nga tulabagana okutuusa ekiseera lwe kyatuuka ne tusalawo okubeera ffembi.    

Yali kasitoma eyajjanga okungulako ebintu bye nnali ntunda.Oluvannyuma lw’okundabira ebbanga, y’ansaba okuba mukwano gwe ow’enjawulo.     

Olw’okuba nga nange nnali mmaze ebbanga nga mumanyiizizza amaaso ate nga n’embeera ze zisanyusa, saamukaluubiriza.

Nategeezza mangu bazadde bange nga bwe nnali nfunye ggaayi antwala. Amangu ddala twakola enteekateeka z’okweyanjula n’oluvannyuma antwale ewuwe era okuva olwo ndi mukyala mufumbo ataliiko kabuuza.    

  Yusufu andabiridde kubanga anjagaliza buli kalungi. Yankolera bizinensi era byonna bitambula bulungi. Kyokka nange nfubye okumuteeka ku mulembe okusinziira ku ngeri gye mulabiriramu. Kati buli w’ayita ayogeza abawala obwama.   

Abamu ku bano batuuka n’okumuwaana nga mpulira ne mpulira nga kimpitiriddeko. Kye mmusaba kyokka kwe kwesonyiwa abawala ab’ekika kino abeegwanyiza buli musajja n’oluusi nga balina ekigendererwa ky’okutabula amaka ga bannaabwe.

N’abawala mbasaba okuwa Yusufu ggaapu. Siraba lwaki tebanoonyaayo abaabwe kubanga abasajja bangi mu nsi ye Yusufu mu mwesonyiwe.

Mbasaba Yusufu mumuwe ggaapu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono