LWAKI baze agenda luutu emu yokka? Alina buzibu ki? Naabirye Hilda, Matugga
KINO kya bulijjo naye kambuuze, balo gw’ogamba alina emyaka emeka? Bw’aba musajja mukulu kiba kizibu okumusuubira okwegatta naawe luutu ebbiri oba okusingawo.
Ekirala olw’embeera eriwo ennaku zino, abantu babeera bakoowu mu mbeera nnyingi kale kino kibeerawo.
Ate omwami bw’aba alina emirimu gy’akola ng’akoowa nnyo kizibu okwegatta emirundi emingi.
Oluusi n’ebizibu mu maka bireeta embeera enno.
Abakyala ennaku zino okwegatta luutu emu tekirina buzibu bwonna singa mwembi mufuna essanyu kuba ne bwe beegatta emirundi 10 nga tebafunye ssanyu tekiyamba.
Si kirungi kuteeka baami bammwe ku bunkenke. Mmanya embeera za munno era tomuwaliriza kukola kintu ky’atasobola. N’ekirala okwegatta si mulimu wabula ekikuuma omukwano.
Baze akoowa mangu