TOP

Omusajja anzisa emiggo

By Musasi Wa

Added 25th March 2013

Nze Racheal Kabasiita 19. Mbeera Namuwongo. Nsulirira kuzaala naye omusajja agaanye okumpa ebyetaagisa

2013 3largeimg225 mar 2013 090719350 703x422



Nze Racheal Kabasiita 19.  Mbeera Namuwongo.

Nsulirira kuzaala naye omusajja agaanye okumpa ebyetaagisa mu ddwaaliro n’asalawo kwekambuwaza n’okunkuba. 

Taata w’abaana musajja alina ssente kuba alina edduuka eritunda cakalacakala wabula agaanyi okundabirira.

Omuvubuka ono mmaze naye emyaka ena nga tulinayo omwana omu, ono gwe nsuliridde okuzaala y’agenda okubeera owookubiri.

Okumanya abayaaye b’ekibuga bazibu, omusajja ono yagaanye okumpa ebyetaagisa mu ddwaaliro era buli kiseera yeekaabya bwavu. 

Bwe nnalabye ebyo bigaanye kwe kusaba ampeeyo obusente obutono ng’ende ewaffe mu kyalo e fort portal nzaalire eyo kuba yo kyetaagisa ssente ntono ddala. 

Kino kyaggye omusajja mu mbeera n’ankubya emiggo emizibu wamu n’ensambaggere, kyokka ng’akimanyi bulungi nti omwana gwe nnina mu lubuto wuwe. 

Binsobedde era simanyi kye ng’enda kukola kuba amagezi ganneesibye.

Alina amagezi g’ayagala okuwa Racheal wandiika ekigambo MAGEZI ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338.

 

Omusajja anzisa emiggo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Jennifer Musisi awangudde engule...

Jennifer Musisi awangudde engule e Netherlands

Santi22 220x290

Bamukakasizza ku butendesi bwa...

Solari, eyazannyirako Real wakati wa 2000 ne 2005, okuva lwe yakwata enkasi ya kiraabu eno ng'omutendesi, yaakawangula...

Swingsmadeoutoftireswebuse 220x290

Weenogere ssente ng’oyongera omutindo...

Buli kintu ekiva ku mmotoka tokisuula kuba kirimu ssente ssinga olowooza n'obyongerako omutindo.

Nkonerako 220x290

Nnoonya alina "waaka"

Njagala omukyala alina ku ssente, amanyi omukwano, ng’ali wakati w’emyaka 20-30, talina siriimu kuba nange ndi...

Umar1 220x290

Umar Mwanje atandise okulya ku...

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ennyimba nga ‘‘Omwana wa musajja, Ttivvi y’omu ddiiro, Nnina ekyejo n’endala...