TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Entangawuzi etambuza ensonga z’omu kisenge

Entangawuzi etambuza ensonga z’omu kisenge

By Musasi Wa

Added 26th November 2013

ENSONGA z’omukwano okutambula obulungi ng’emboozi z’omu kitanda zigenda bukwakku. Wabula emirundi mingi abaagalana bafuna obuzibu okutambuza ensonga zino nga kiva ku kubulwa bwagazi oluusi ku njuyi zombi.

2013 11largeimg226 nov 2013 124502990 703x422ENSONGA z’omukwano okutambula obulungi ng’emboozi z’omu kitanda zigenda bukwakku. Wabula emirundi mingi abaagalana bafuna obuzibu okutambuza ensonga zino nga kiva ku kubulwa bwagazi oluusi ku njuyi zombi.

Abaagalana abalina obuzibu buno kirungi ne beekwata entangawuzi. Eno musobola okuginywera mu caayi, okuginuuna oba okugifumbira mu mmere ng’ogigasse n’ebirungo ebirala ebyeyambisibwa mu kufumba emmere.

Abakugu mu by’omukwano bagamba nti entangawuzi erimu ekirungo ekiyamba okwongera obusimu bw’omukwano mu mubiri.

Entangawuzi bw’oginywa oba okugirya egogola emisuwa ekiyamba omusaayi okutambula obulungi ate ku sipiidi eya waggulu.  Omusaayi guno bwe gutuuka mu bitundu by’ekyama bicamuka ekireetera n’obwongo okucamuka nga bulowoozezza ku kwegatta.

 Kino ku ludda lw’omusajja kimuyamba okuwaga ate era ne limuyamba n’okuwangaalira mu kisaawe, kubanga omusaayi gye gukoma okugenda mu busajja nabwo gye bukoma okucamuka, era n’afuna essanyu.

Ate ku ludda lw’omukazi omusaayi bwe gweyiwa mu bukyala bwongeramu ebbugumu, erimwongera okucamuka, ebintu ne bitambula bulungi.

 

Entangawuzi etambuza ensonga z’omu kisenge

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.