TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga gwe yandabira musuubiramu mpeta

Ssenga gwe yandabira musuubiramu mpeta

By Musasi Wa

Added 13th January 2014

GGAAYI ssengange gwe yandabira ampadde emirembe. Nze Harriet Nalumaga. Mbeera Kayabwe ku lw’e Masaka.

2014 1largeimg213 jan 2014 091659390 703x422



GGAAYI ssengange gwe yandabira ampadde emirembe. Nze Harriet Nalumaga. Mbeera Kayabwe ku lw’e Masaka.

Kitange mmwebaza nti yansalirawo ku by’obufumbo mu kiseera ekituufu. Yandaba nga nkuze bwatyo kwe kutuukirira ssengenge, Namyalo n’amusaba okundabira omusajja omutuufu ampase.

Ssenga yatandika okusuula enkessi okumala akabanga okukkakkana ng’agudde ku mwanamulenzi John.

Nange nnaweebwa omukisa okusisinkana John nga tetunnaabaako we tutuuka. 

Ekirungi yalina ebisaanyizo ebisinga ku bye nnali njagala. Musajja muntumulamu, wa kisa, afaayo eri obulamu bwange n’obwabantu bange ate ng’ayagala nnyo enkulaakulana.

Amangu ddala yakyalako mu bakadde bange abaamukkiriza okuntwala ewuwe tutandike amaka.

Mu kiseera kino tulina abaana babiri sso nga tukyasuubira n’abalala bangi.Yanzimbira era n’ankolera ne bbizinensi omuva ssente ezikola ku bizibu byange eby’ekikazi ebitonotono.

Okusinziira ku bbanga lye mulabidde ne bye tuyiseemu, sikyalina kwejjusa kwonna.

Eno y’ensonga lwaki ndayira mu maaso gammwe nti ono ye ggaayi gwe ng’enda okwagala okutuusa okufa lwe kulitwawukanya.

Kye musaba kwe kuteeka mu nkola eky’okunkuba empeta mu December w’omwaka guno kinnyongere essuubi. Eky’okuba nga nze ndi Mukatoliki ate nga ye Mukrisitaayo, sigiraba ng’ensonga eyinza okufuuka omuziziko mu bufumbo bwaffe.

Ndi mwetegefu okukkiriza essinzizo lyonna gy’anaantwala tukubire omwo ebiragaano by’obufumbo obutukuvu. John mmusuubiza okumwagala, okumussaamu ekitiibwa n’okumuyamba okukulaakulana tutuuke n’okugaggawala.

Ssenga gwe yandabira musuubiramu mpeta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....