TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki abakazi abafumbo benda ku ‘bakayanda’

Lwaki abakazi abafumbo benda ku ‘bakayanda’

By Musasi Wa

Added 14th January 2014

ABASAJJA be tuyita abaawansi (bakayanda) buli lukya beeyongera okulivvula bakaabasajja ne batuuka n’okusuuzaawo amaka gaabwe ne babatwala mu buzigo gye babasulikira ennenge.

2014 1largeimg214 jan 2014 145508530 703x422



ABASAJJA be tuyita abaawansi (bakayanda) buli lukya beeyongera okulivvula bakaabasajja ne batuuka n’okusuuzaawo  amaka gaabwe ne babatwala mu buzigo gye babasulikira ennenge.

Abasiizi ba cutekisi, abavuzi ba bodaboda, abasiisi ba capati, abapakasi n’abasajja abalala abakola emirimu gya wansi tulabye bangi abaganzizza abakazi abafumbo ate ng’abaami baabwe beesobola mu by’ensimbi.

Nga December 26, Fred Kayongo ow’e Kajjansi nga musuubuzi wa ttaka yakwata lubona maama w’abaana Annet Nakawungu nga basinda omukwano n’omukozi w‘awaka Andrew Galiwango.

Ate gye buvuddeko omusajja ku Kaleerwe yakutte mukazi we n’omusiizi wa cutekisi n’amumugabira.

Kuno kulozaako buloza. Abakazi bangi abeesanze mu mbeera y’okuganza ebbali ate ng’abasajja be baganza baba tebagya mu kiraasi yaabwe.

Embeera eno eva ku ki?

 Grace Nammande, omukugu mu kubudaabuda abantu akolera mu Community Effort to Support Children e Bbira - Bulenga agamba nti abasajja be basinga okuvunaanyizibwa ku nsonga eno.

Agamba nti abasajja tebakyalina budde bwe bawa bakyala baabwe n’ab’omu maka gaabwe.

“Abasajja tebakyalina budde bulya, kunywa oba okubeerako n’ab’omu maka gaabwe. Embeera ey’ekika kino buli muntu yandigyagadde era omusajja bw’alemwa okugituukiriza obulungi ekiddirira ye mukazi okunoonyaayo omulala anaagituukiriza, atte ng’abasajja aba wansi baba n’obudde bungi ob

Waliwo abasajja abalemererwa ddala okulabirira bakyala baabwe.Buli mukazi lw’alemwa okufuna by’ayagala ekiddirira  kutandika okutunula ebbali okulaba ng’afunayo ayamba. W’amugwiirako ne bw’aba afaanana atya tasuula bubonero.

Amaka okubulamu okuteesa n’okwogeraganya. Okwogeraganya nsonga nkulu nnyo mu maka era bwe kubulawo eno y’embeera eyinza okuddirira. Kyetaagisa abafumbo okwogera ku nsonga zonna ezibanyiga ne balaba engeri y’okuzinogeramu eddagala. Embeera eno bw’ebulamu mu maka bingi ebisoba. 

Okwesasuza. Abakazi abamu bakkiririza mu kwesasuza.Bw’amanya nti munne alinayo omukazi omulala ebbali, naye asalawo kwesasuza na kufunayo musajja omulala nga n’oluusi tafuddeeyo ku mbeera ze.

Obutatuukiriza nsonga za mu kitanda. Abasajja bangi abalowooza nti abakazi tebatera kufuna bwagazi nti era eby’okwegatta babikola kusanyusa basajja. Kino si kituufu ku bakazi abamu, era singa omufuna ng’abaddeko n’abasajja abawera, ne yeesanga nga ggwe engeri gy’osambamu akapiira temumatiza, kiba kizibu okukunywererako.

Abasajja kye balina okukola okutaasa embeera eno

Nammande agamba nti bino wammanga bye bimu ku bintu abasajja bye balina okukola.

Muwe abakazi n’abantu b’omu maka gammwe obudde obumala. Agamba nti buli musajja yandibadde afissaawo akadde n’abeerako n’abantu be okumala akaseera.

Muteekeewo embeera ebasobozesa okwogeraganya n’okuba abalambulukufu eri buli omu.Ensonga zonna ezitatambula bulungi mutuule muzoogereko era muzisalire amagezi ng’abafumbo nga tezinnasajjuka.

Ng’abasajja abafumbo mulabe nga mutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka gammwe. Buli lw’olemwa okukola ku bizibu by’omukazi manya nti alina okwesalira  amagezi.

Ebizibu ebiva mu bakazi  okuganza ebbali

Endwadde z’ekikaba. Omukazi okuganza abasajja b’ebbali baba n’emikisa mingi okuwa ekyanya endwadde z’ekikaba omuli ne siriimu.

Abaana ab’ebbali. Omukwano ogw’ekika kino guvaamu n’abaana eb’ebbali ebiseera ebisinga abafuuka ekizibu mu maka.

Obusambattuko mu maka. Omusajja bw’amanya nti mukazi we alina abasajja abalala ebbali tayinza kusirika busirisi. Embeera eddirira ereetawo obusambattuko mu maka oluusi ekigaviirako n’okusasika. 

Lwaki abakazi abafumbo benda ku ‘bakayanda’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit3 220x290

ISO efunye obujulizi ku baayokezza...

ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko