TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Weekwate bino laavu ekunyumire mu 2014

Weekwate bino laavu ekunyumire mu 2014

By Musasi Wa

Added 14th January 2014

Nga bwe guli omwaka omupya, bangi bye bapulaninga mu nsonga z’omukwano. Omwaka oguwedde abamu ku bakyala baafuna ebiwundu ku mitima olw’ebintu bye bataafuna oba obuvunaanyizibwa bwe bataatuukiriza.Nga bwe guli omwaka omupya, bangi bye bapulaninga mu nsonga z’omukwano. Omwaka oguwedde abamu ku bakyala baafuna ebiwundu ku mitima olw’ebintu bye bataafuna oba obuvunaanyizibwa bwe bataatuukiriza. 

Bw’oba nga munno alina engeri gye yakunyiizaamu, kola bino omukwano gwammwe gugende mu maaso.

1 Weewale okwesasuza. Bangi bagudde mu buzibu olw’okwagala okulaga nti naye tannyingirwa mu ttooke. Oluusi basibira na Luzira olw’ekikola kino. Buli kintu kikwate mpola.

2 Weewe emirembe: Abakyala bangi beemalako emirembe olwa baganzi baabwe bye baba basobezza. Teri mu nsi alikuwa mirembe okuggyako gwe kennyini. 3 Manya nti teri kitaggwa n’ekyo ky’oyitamu kijja kutuuka kiggwe.  

4 Oluusi embeera yo oyinza okugiyitiramu munno gwe weesiga okusinga w’ogyeterekera ku mutima. Kijja kukunyiga weesange ng’olinga ali wekka mu nsi. Buli lwo kigabana ne munno weesanga ng’obusungu bukkakkanye. 

5 Okwogera ku kiba kikunyiiziza ne munno ne bw’oba ng’onyiize nnyo, Buli lw’obuubuuka n’oyomba munno oyongera kumutgoba.

6  Oluusi abakyala abamu bakola ensobi ne banjala ensoga zaabwe mu baana. Buli munno lw’oyanika obuzina bwe mu baana tebalimuwa kitiibwa lwa nsonga anti naawe tokimuwadde. Esonga zammwe muzimalire mu kisenge. Abamu babalumba gye bakolera, mu kubbo ekitali kituufu.

7 Bulijjo tulowooza nti omuntu gwe wasisikana mu bukulu alina okukuyisa nga bwe yakusisikana. Buli mukyala olina okumanya nti gw’ossaamu ebbugumu  mu mukwano gwammwe. Manya wa w’okoma era munno tomulunda nga mbuzi. Ky’otolabye tekikumalaako mirembe, ky’owulidde kiwe ebiseera bitono ddala era omanye nti omwami wo si malayika, wabula muntu nga ggwe era asobya. 

8 Abakyala oba abawala si kya tteeka nti balo oba muganzi wo y’alina okukutwala awutu. Naawe oyinza okweteekamu ssente ne weesanyusaamu nga ggwe mu buvunaanyizibwa. Era bw’olikikola ebintu by’okukuleka awaka ojja kulaba nga tebikyakuluma. Osobola okulya ku ze weekoledde.

9 Sigaanyi munno ayinza okuba ng’akunyiiza naye waliwo ebirungi by’akukoledde. Buli lw’owulira obusungu tunulamu omwami oyo by’akukoledde ebirungi. Abakyala abasinga anyiiga nnyo olw’ebibi omwami by’amukoledde ne yeerabira ebirungi by’amutuusizako.

10  Tunuulira nnyo ebintu ebizimba gwe n’abaana oba n’obulamu bwo nga tonnasalawo kukola ky’otegese kukola. 

Oluusi abakyala oba abawala basalirawo mu busungu ate ne yejjusa oluvanyuma ng’ate tekyalina kya kuzza oba okukola. 

Ffuba nnyo okukolera okubeera awamu ne munno okusinga okwawukana kubanga ku nsi tolisanga muntu alina buli kimu ky’oyagala.

 

Weekwate bino laavu ekunyumire mu 2014

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...