TOP

Baze yaganza mukwano gwange

By Musasi Wa

Added 15th January 2014

SSENGA obufumbo bunnemye. Omwami yayagala mukwano gwange era kati ali lubuto.

2014 1largeimg215 jan 2014 090131537 703x422SSENGA obufumbo bunnemye. Omwami yayagala mukwano gwange era kati ali lubuto.  Ekizibu ssenga omwami ono kati tasula waka naye buli kintu akireeta awaka era ne ssente aziweereza.

Kati agamba nti agenda kundekera ennyumba n’abaana bange agenda kubeera ne mukwano gwange.

Ssenga mpulira nfa. Omusajja nnamwanjula ewaffe ate mukwano gwange ye yali metulooni wange. Ssenga nfa nnyamba sikyalya mmere nkozze nninga omulwadde wa siriimu.

NG’OLABYE mwana wange. Mu butuufu omwami wo yakola bubi ate era ne mukwano gwo yakola bubi. Naye mwanawange embeera w’etuuse olina kuguma.

Ekirungi omusajja ono agenda kukule¬kera w’obeera n’abaana. Mwana wange weetaaga obuyambi era n’okwogera n’abakugu ku nsonga eno.

Kubanga embeera gy’olimu yeetaaga buyambi. Mu mbeera eno gy’olimu ekisinga obukulu bulamu bwo.

Nkimanyi omusajja okyamwagala naye kati obul¬amu bwo kye kikulu. Anti olina n’okulabirira abaana bo.Kuba ku 0772455645 oyogere n’omukugu.
 

Baze yaganza mukwano gwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...