TOP

Obufumbo bwali bunfuukidde ekkomera

By Musasi Wa

Added 15th January 2014

Nnaliko mu mukwano era ne mbeera ne mu ddya okumala emyaka ebiri miramba naye sirina kye nzijukira nti kiyinza okunkaka okudda mu bufumbo.

2014 1largeimg215 jan 2014 090705117 703x422



NZE Noelina Nakiyana mbeera Byerima mu disitulikiti y’e Kyankwanzi nga nasigala kwekolera mirimu gyange eby’abasajja nnabikoowa.

Nnaliko mu mukwano era ne mbeera ne mu ddya okumala emyaka ebiri miramba naye sirina kye nzijukira nti kiyinza okunkaka okudda mu bufumbo.

Ebbanga lyonna eryo nnalimala ng’omusajja ankuuma nga musibe kyokka nga talina ky’ampa. Bwe yali yaakankwana yalina empisa z’otolabanga era ng’alaga nga bw’anneesiga ennyo.

Mu butuufu yali ampa emirembe era ssaakirowoozaako nnyo bwe yansaba okumufumbirwa kubanga nnalaba nga nfunye omusajja atasangika olw’embeera ze.

Twatandika obufumbo bwaffe era nga nnina emirembe anti nga nkola buli kye njagala nga ne bwe mba waakutambulako mmutegeeza butegeeza si kumusaba anti nga tang’aana kubanga yali andaze nti takirinaamu buzibu.

Tuba tuweza omwaka, munnange n’atandika okundaga langi ze entuufu. Kino yakitandikira ku mikwano gyange gye yang’amba nti tayagala kuddamu kundaba na muntu.

Nnasooka ne ndowooza nti asaaga kubanga si bwe yali wabula yandaga nti akitegeeza bwe yanteekako n’amateeka obutaddamu kuva waka.Yatandika okukambuwala nga buli kiseera anninnya akagere ne mpulira ng’emirembe gimpeddeko.

Teyakoma kwekyo wabula yalekeraawo n’okumpa ebyetaago nga bwe musaba ekintu tannyega ate nga takikola. Nnali nteekateeka kumuzaalira naye embeera ze bwe zaakyuka nange ne nninya ekya wakati.

Emyaka bwe gyawera ebiri nnagenda okulaba nga sijja kusobola bufumbo bwa busibe kwe kunobayo. Natandika obulamu obuggya era kati mbee¬beerera bwomu.

 

Obufumbo bwali bunfuukidde ekkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa