TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyambulako mmuzudde ne tuddamu laavu buto

Eyambulako mmuzudde ne tuddamu laavu buto

By Musasi Wa

Added 16th January 2014

KATONDA kye yategeka nga kikyo ddala tewabaawo alikitwala, nange n’akaaba nga ndowooza nti muganzi wange yali ambuzeeko wabula Mukama yamukomezzaawo ne tutandikira we twakoma.

2014 1largeimg216 jan 2014 133902407 703x422



  KATONDA kye yategeka nga kikyo ddala tewabaawo alikitwala, nange n’akaaba nga ndowooza nti muganzi wange yali ambuzeeko wabula Mukama yamukomezzaawo ne tutandikira we twakoma.

Nze Hakim Ssengendo. Mbeera Kitebi wabula essanyu lye nnina ennaku zino lya mwoki wa ggonja anti omwagalwa wange yakomawo mu mikono gyange.

Nga tukyasoma nnafuna mwana muwala Justine eyandya obwongo ne mmuganza era ne twagalana okukamala.

Wabula olw’okuba twali tukyasoma bazadde be baamutwala gye saategeera asomere eyo nga bakitegeddeko nti twagalana.

Ebiseera ebyo nnali sirina ssimu nga naye talina kale kyali kizibu okwenoonya. 

Nnabuuza abamu ku b’eng’anda ze wabula ne bagaana okumbuulira ne ngezaako ku mikwano nabo nga tebamanyi ne mbivaako nga ndowooza nti munnange yali atwaliddwa.

Okugenda kwa Justine kwannuma nnyo era nnamalako kumpi wiiki nnamba ng’emmere gye ndya mpulira ekaawa era nnafunamu n’omusujja naye nga mukwano gwe gundwaza.

Wabula ku nkomerero ya 2012 nnali ntambulatambula mu kibuga ne nsanga Justine era kata emmotoka zinkoone olw’essanyu lye nnafuna.

Ekyasinga okunsanyusa nti nga bwe nnali munnoonya ate naye bwe yali annoonya era awo we twatandikira era kati tuli bafumbo abateredde entende.

Buli omu yalekayo be yali afunye ne tutwala omukwano gwaffe mu maaso era kati ntegeka mukuba mpeta mugobeko amalindirizi.

Eyambulako mmuzudde ne tuddamu laavu buto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...