TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebirabo bye nnagula ku Valentayini byandibirira!

Ebirabo bye nnagula ku Valentayini byandibirira!

By Musasi Wa

Added 12th February 2014

VALENTAYINI y’omwaka oguwedde yansala era sirigyerabira. Omusajja eyanguzisa ebirabo yanjiwa n’atalabikako ku lunaku mulindwa.

2014 2largeimg212 feb 2014 130841267 703x422



VALENTAYINI y’omwaka oguwedde yansala era sirigyerabira.  Omusajja eyanguzisa ebirabo yanjiwa n’atalabikako ku lunaku mulindwa.

Nze Sylvia Nakato, mbeera Nsambya. Omusajja gwe njogerako yali mutembeeyi ng’abeera wuwe nga nange mbeera wange. Twamala akaseera nga twagalana era ng’andaga nti afiira ku nze nzekka.

Ng’ebula mbale tutuuke ku lw’abaagalana, twakola entegeka y’olunaku tusobole okuluyitamu nga tuli mu mbeera eyeeyagaza okufaananako abaagalana abalala.

Okumanya omusajja nnali mmwesiga nnamuwa omutima gwange gwonna n’ebirowoozo kuba nnali mpulira nga mmwagala.

Nagenda gye batunda ebirabo ne mmugulirayo akatambaala, sswiiti, akamuli n’ebirala. Bino nasalawo okubitereka nsobole okubimutonera ku lunaku olulagaane maye amanye nti mmulowoozaako.
Ku lunaku lwennyini nnatandikirawo okwetegeka mu ngeri ey’enjawulo kuba munnange yali ansuubizza okuntwalako ku bbiici ne mu kiraabu okulya ku bulamu.

Olunaku bwe lwatuuka nnamukubira essimu nga tagikwata ne ndowooza nti osanga tali nayo.
Nnagezaako enfunda eziwera okutuusa bwe yatandika okugifuula bbize.

Kino kyandowoozesa ebintu bingi kuba mu kaseera ako nnali mmaze okusuulamu obwambalo nga nneetegese okugenda okulya obulamu.

Omulundi ogwasembayo olwali okukuba essimu, mukazi ye yagikwata n’andabula okumuviira ku musajja kuba mufumbo.

Ebigambo omukazi bye yang’amba byantyemula emmeeme ne nzigwamu amaanyi era amaziga ne gatandika okukulukuta. Yanvuma ebigambo bingi omwali n’okumpita embwa n’ansaba mwesonyiwe basobole okumaliriza bye baliko.

Embeera gye nnalimu yali nzibu nnyo kyokka nga mikwano gyange be nnandibadde nsobola okutambula nagyo baali baagenze dda nga nze nninda muganzi wange. Ebirabo bye nnali nguze byonna byandibiriraanti nga sirina gwe mbiwa.

Okumanya omusajja yanjooga, enkeera yankubira essimu tusisinkane tusobole okudding’ana ne ng’aana nga sisobola kumalako na musajja muyaaye.

Omusajja yantama kati nnasigaza kwekolera mmaali okusobola okwebeezaawo, era ebya Valentayini ku luno si bye ndiko.

Ebirabo bye nnagula ku Valentayini byandibirira!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...