TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ekimuli kya Valentayini kyandibadde kya Rosa ekimyufu

Ekimuli kya Valentayini kyandibadde kya Rosa ekimyufu

By Musasi Wa

Added 14th February 2014

ABAAGALANA bangi bali mu keetalo nga beetegekera olunaku lw’Abaagalana. Buli omu yeesunga munne nga n’abamu beebuuza gye bagenda okulumalirako n’okunoonya ekika ky’ekirabo kye bayinza okubawa.

2014 2largeimg214 feb 2014 104111580 703x422



ABAAGALANA bangi bali mu keetalo nga beetegekera olunaku lw’Abaagalana. Buli omu yeesunga munne nga n’abamu beebuuza gye bagenda okulumalirako n’okunoonya ekika ky’ekirabo kye bayinza okubawa.

Buli muntu waddembe okuyiiyiza munne ekirabo omuli n’ekimuli naye ekyebuuzibwa kimuli ki? 

Muky. Samalie Lubega owa Samagal Decor e Bweyogerere agamba nti ekimuli kya Valentayini kyandibadde kya Rosa nga kimyufu. Ayongerako nti bw’oba omuyiiya ennyo osobola okukozesa ekyeru n’osibako kaliboni akamyuufu. Kirabika bulungi era nkakasa omwagalwa wo ajja kukusiima.

Ku kimuli oyinza okuyiiyizaako ‘Teddy Bear’ emyuufu n’eccupa ya wayini.  Kuno omusajja asobola okwongerezaako obuwale n’obuleega mu langi emmyuufu ne Chocolate. Naye ng’ekimuli kye kyandibadde kisinga.

Ku lunaku luno ekimuli kino tekiriiko ludda. Buli omu asobola okukitonera munne yadde ng’abakyala be basinga okwagala olunaku luno okusinga abasajja. Okufuna amakulu g’ekimuli kino olina okweteekateeka okikole ng’ekyewuunyisa eri munno. Kino kijja kubayamba okunyumirwa olunaku luno kubanga munno ojja kuba omukoledde olunaku. 

Era fuba okulaba nga  bw’oba munno okimuwa omuwereekerezaako ebigambo bya laavu. Okugeza: Ow’omukwano Eva, nkuwadde ekimuli kino okukulaga nti nkufa bitole era sirikwabulira. Ddiya okukuwa ekimuli ekimyuufu kitegeeza nti omusaayi gwaffe gukwatagana. Ate ekyeru kitegeeza bwerufu okukakasa omwagalwa wo nti omukwano gwe mulimu si gwa bukuusa. 

Kati munnange olina okwegendereza ng’olonda ekimuli.

Ekimuli kya Valentayini kyandibadde kya Rosa ekimyufu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere