TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri situleesi gy’ebuza amaanyi g'ekisajja

Engeri situleesi gy’ebuza amaanyi g'ekisajja

By Musasi Wa

Added 24th June 2014

ENSONGA y’amaanyi g’ekisajja zisonyiwaza abasajja bangi okwogerako. Era abalina ekizibu kino bakaluubirizibwa okunoonya obujjanjabi.

2014 6largeimg224 jun 2014 095203370 703x422



ENSONGA y’amaanyi g’ekisajja zisonyiwaza abasajja bangi okwogerako. Era abalina ekizibu kino bakaluubirizibwa okunoonya obujjanjabi.

Embeera eno etera okubaawo omusajja bw’agenda akula.

Wabula ekirungi kiri nti singa amanya mangu ekireeseewo obuzibu buno kisoboka okukisalira amagezi n’atereera. 

OMANYA OTYA NGA TOLINA MAANYI:

Omusajja atalina maanyi afuna obuzibu okucamuka. Ate bwe yeegaganula n’acamuka tamala bbanga ng’atengeredde n’agwa.

Kino kitegeeza nti kimuzibuwalira okucamuka okutuukira ddala ku ssa w’asanyusiza munne. Bw’aba yeekakabye akoma wakati, ate omusajja ali mu mbeera eno, bw’ayingira ebuziba n’embooge tebuguma ng’amaanyi gamuwedde.

Waliwo ebintu bingi ebivunaanyizibwa ku musajja okucamuka n’okuwangaalira mu kisaawe omuli; obwongo, ebinywa, emisuwa, obutoffaali bw’omubiri n’ebitundu ebirala.

Kino kitegeeza nti singa omusajja aba n’ekizibu kyonna mu kimu ku bitundu bye eby’omubiri ebivunaanyizibwa ku kucamuka, olwo obuzibu buba butuuse.

Ali Male omukugu mu kubudaabuda abantu era nga ye mwogezi wa Uganda Counselling Association agamba nti amaanyi g’ekisajja gaviira ddala mu bwongo era obwongo singa bubaako ekibutawaanya kyonna, kizibu omuntu okufuna amaanyi. Naye ebyembi ensangi zino abantu balina ebitawaanya obwongo bingi ddala. 

“Emirimu gyabula, ate abatono abagirina ensimbi tebazirabako sso ng’ebyetaago bingi. Kino kireetera abasajja okuba mu kweraliikirira ebbanga lyonna ng’ebyokwegatta tebaagala kubirowoozako. 

Omusajja bw’aba n’ebimutawaanya tasobola kwegatta kuba obwongo bukola ng’entabiro ku kikolwa ky’okwegatta.” Bw’ayongerako.

Male agattako nti n’okukozesa ebitamiiza, ebiragalalagala n’endya embi byonna byongera kusajjula mbeera.

Ate Dr. James Ssemakalu owa Kireka Medical Centre eky’abasajja okubulwa amaanyi g’ekisajja asinga kukissa ku ndwadde za kikaba nga kabootongo n’enziku kuba n’obwenzi bucaase nnyo.

Ekirala agamba nti endya embi ereese omugejjo mu basajja nayo nsonga nkulu ereemesa abasajja okufuna amaanyi. Okulya ebisiiike, ebiwoomerera n’ebitamiiza byonna bireeta omugejjo ogulwaza endadde nga puleesa.

Dr. Ssemakalu agamba nti abasajja abasinga abakeberwa nga balina ekizibu ky’omutima basooka kwemulugunya olw’obutaba na maanyi gamala.

Agattako nti situleesi n’okweraliikira tosobola kubyawula ku kizibu kya musajja kubulwa maanyi ga mu kitanda.

Ate era abasajja abalina situleesi oba abeeraliikirira olw’ensonga ez’enjawulo batera okufuna obulwadde bwa puleesa ate nga nabwo bukola kinene mu kubuza amaanyi.

Okwewala bino byonna kirungi omuntu okumanya nti okuba ne situleesi kiba kitegeeza nti omubiri gwo gulina embeera gye gulwanyisa, era singa tofaayo kugikolako esobola okukukosa ennyo.

Ekibi nti emirundi egisinga omusajja bw’amanya nti alina ekizibu ky’amaanyi g’ekisajja ate yeeyongera okweraliikirira  ekimwongera okufuna endwadde nga puleesa.

Ebimu ku bireeta situleesi mulimu; 

  • Ebizibu by’oku mirimu.
  • Ebizibu mu bufumbo.
  • Obulwadde oba okufiirwa omwagalwa.
  • Okutya okukaddiwa.
  • Obuzibu mu byobulamu.
  • Okubulwa ssente.

Alina obuzibu weekwate bino;

DR. Ssemakalu agamba nti ekisinga obukulu ye musajja alina obuzibu buno okukkiriza nti waliwo ekitatambula bulungi.

Olwo ekiba kirina okuddako kwe kulaba omusawo amunnyonnyole awayinza okuba nga we wava obuzibu.

Bwe kiba nga kiva ku bulwadde nga puleesa oba omutima asobola okufuna eddagala erimuweweeza ekizibu ne kikendeera. 

Agattako nti kirungi buli musajja okwemanyiiza okukola dduyiro kubanga ayamba mu kugogola ebinywa, ayamba omusaayi okutambula obulungi n’asobola okusaza ekimu mu kisaawe.

Engeri situleesi gy’ebuza amaanyi g''ekisajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.