TOP

Essimu katono ensubye omusajja

By Musasi Wa

Added 6th October 2014

EBY’OKUKEBERA essimu y’omusajja nasalawo kubyenenya kuba yatuleetera okutabuka era twawonera watono okwawukana.

EBY’OKUKEBERA essimu  y’omusajja nasalawo kubyenenya kuba yatuleetera okutabuka era twawonera watono okwawukana.      

Nze Racheal Katushabe. Mbeera Kyebando. 

Omusajja wange tumaze naye emyaka ebiri nga twagalana  naye ng’abeera wuwe nga nange mbeera mu bakadde bange kyokka nga tulabagana bulungi buli we tuba twagalidde.

Okuva emabega yonna, mbadde nnina omuze gw’okukebera essimu y’omulenzi wange nga ngezaako okukola okunoonyereza nzuule oba alimu embaliga n’emize emirala.    

Gye buvuddeko katono nnagudde ku kyokya.  Nnamulabirizza nga taliiwo ne nkebera mu ssimu ye. Nnasanzeemu obubaka obwali bumuweereddwa  nga bwa mukwano okuva ew’omukazi. Ebyembi, nnabadde nkyabusoma n’ansangiriza ne tutabuka.

Namubuuzizza ebikwata ku bubaka bwe nnali nsomye mu ssimu. Yadda mu kubyegaana nga bwe yali tabimanyiiko.

Oluyombo lwali lwa maanyi kuba lwalimu n’okuwaanyisiganya ebisongovu olwo ensonyi ng’azifudde obusungu.    

Kyampitiriddeko kuba nnali sikisuubira ne kinkuba wala ne nkaaba.   

Eky’okukolera omusajja kyambula okutuusa enkeera bwe twatuula  n’anneetondera ne tudding’ana. 

Okuva kw’olwo nnasalawo okwesonyiwa essimu y’omusajja era ne bw’evuga ngiraba bulabi.

Essimu katono ensubye omusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.