Nasika abalongo nga bawanvu ddala okwenkana engalo naye bwe mba sibakuteeko okumala omwezi baddayo buto. Nkole ntya?
Kino mwana wange kya bulijjo. Waliyo abasika abalongo nga tebaddayo naye ate waliyo n’abasika
abalongo nga buli mwezi alina okuddamu okusika ate oluusi bw’amala okuzaala alina okuddamu okusika.
Mwana wange oba obaagala nnyiikira okubasika buli mwezi. Okulwala omwezi kulina bwe kugootanya
omubiri gw’omukyala kale nga mu bakyala abamu kino bakifuna.
Abalongo mbakole ntya?