TOP

Omusajja anzibako obusente bwange

By Musasi Wa

Added 16th February 2015

NZE Rose Kayengo. Ndi mutuuze w’e Kansanga Nabutitti. Mmaze omwaka gumu mu bufumbo n''omwami wange era ndi lubuto lwa myezi ebiri.

NZE Rose Kayengo. Ndi mutuuze w’e Kansanga Nabutitti. Mmaze omwaka gumu mu bufumbo n'omwami wange era ndi lubuto lwa myezi ebiri. 

Wabula enfuna y'omwami wange ntono nnyo era olw'okuba manyi nti tasobola kumpa byetaago byange byonna  omuli ne ssente z'enviiri nnasalawo okukola ennyo nsobole nange okuyimirizaawo amaka gaffe.

Wabula omwami wange ammazeemu nnyo amaanyi olw'okusomolanga ssente zange ze ntereka mu mu nju. 

Ntunda kaduuka era obusente obuvaamu mbutereka waka kyokka  bubula buli lunaku. Nsiiba nkyusa ebifo we ntereka ssente zange olw'okutya okunziba era nga nkakasa nti omwami wange yazitwala kuba tuli babiri ffeka mu nju.

Mu kusooka omwami ono yasookanga n'ansaba ssente mu bulungi era nga nzimuwa kyokka bwe nnamuwanga 20,000/- ng'abba endala 30,000/-.

Ku luno yasazeewo kusitula zonna 200,000/-. Ku zino kwabaddeko ez'okusasulako ennyumba ne kapito ow'okwongera mu bizinensi yange.

Wabula omuze omulala gwalina gwa kukuba. Mukubi mulungi era enkovu zino zonna eziri mu feesi yange  miggo gye, kyokka olumala okunkuba agattako okunkwagulakwagula mu maaso mbu baleme kunkwana.

Nsazeewo ku luno kumutwala ku poliisi nga kye njagala ampe ssente zange era sijja kuweera okutuusa ng'azisasudde. Akkirizza okuzisasula n'akola n’endagaano nga buli wiiki waakumpako 50,000/-.

 

Omusajja anzibako obusente bwange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...