TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bukedde weebale kumponya mpewo ya kiro: Kati tubuusa balongo

Bukedde weebale kumponya mpewo ya kiro: Kati tubuusa balongo

By Musasi Wa

Added 17th February 2015

EYALABIKIRA mu banoonya essanyu lyalina likirako lya mwoki wa ggonja oluvanyuma lw’okufuna omusajja n’amuzaalamu n’abalongo.

EYALABIKIRA mu banoonya essanyu lyalina likirako lya mwoki wa ggonja oluvanyuma lw’okufuna omusajja n’amuzaalamu n’abalongo.

Mastula Namusobya omutuuze w’e Kabumba mu ggombolola y’e Busukuma mu Wakiso anyumya bwati nti okunoonya lutabaalo lwennyini era  emboozi ye aginyumya bwati;

Okusooka ebintu byali tebintambulira bulungi nga buli musajja gwe ngezaako andaga buyaaye ate nga nnali nneetaaga omusajja omutuufu bwe tusobola okukola amaka. Kino kyampitirirako okutuusa bwe nnasalawo okugenda ku Bukedde Ttivvi.

Nnatuukirira Bukedde mu 2011 ne nsaba bakole ku nsonga yange. Waayitawo akaseera katono ne ndabikira mu Banoonya. Olunaku lwe nnalabikira ku mpewo sigenda kulwerabira kuba nafuna essimu ezitamanyiddwa muwendo okuva mu bitundu ebitali bimu.

Natandika okusisinkana abasajja bano. Mu kaseera ako eby’okukola emirimu ne mbivaako ng’obudde obusinga mbumalira mu byakunoonya musajja.

Nafuna okusoomoozebwa kungi kuba abamu ku basajja be nnasisinkanako nga baagala kuntwalirawo mu by’omukwaano ekitaali kituufu. Ate abamu ng’okulabikira ku Ttivvi bakiraba ng’ekivve era azzizza omusango.

Mu bankubira essimu mwe mwali ne baze Ssaalongo Kabazzi. Yali ayogera bulungi ate ng’ebigambo bye bya njawulo ku basajja abalala ate nga mukwatampola. Okusinziira ku ngeri gye yali ayogeramu kye kimu ku byasinga okuntengula omutima okumwagala.

Twalagaana olunaku lw’okusisinkana kyokka olwali okumulabako nnamusiimirawo.

Okuva kw’olwo tetwadda mabega, twasooka kwekebeza musaayi era ebyavaamu byali birungi ekyayongera okumpa essanyu kuba yali mumalirivu mu buli kimu. Oluvannyuma twatandika obulamu obw’obufumbo mu maka gaffe agasangibwa e Kabumba .

Mu bufumbo bwaffe tufuniddemu ebirungi bingi omuli n’ezzadde ly’abalongo. Tusobodde okwekulaakulanya, okuzimba amaka era tuli mu ntegeka za kugenda kweyanjula mu bakadde basobole okumutegeera mu butongole 

Ate Ssaalongo Kabazzi agamba nti yali ku Bukedde Ttivvi ku pulogulaamu y’Abanoonya kwe yalabira mwana munne n’amusanyusa. 

“Nange nnali nnoonya mukazi waakuwasa ng’obuwuulu buntamye. Okuva lwe nnafuna mwana munnange obulamu bwakyuka kuba nnawona okwoza engoye, okugolola, okusulirira ebikomando n’ebirala.

Bukedde weebale kumponya mpewo ya kiro: Kati tubuusa balongo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...