TOP

Okuva ku ddagala kyanziza ku ndiri

By Musasi Wa

Added 3rd June 2015

“OKUVA mu mwaka gwa 1997 nga ndi musajja wandwadde. Nnalumbibwanga endwadde eziwerako okwali omutwe, omusujja gw’olutentezi n’embiro ebyammalako emirembe. Ssaasooka kulowooza nti embeera eno yali eva ku bulwadde bwa siriimu.”

2015 6largeimg203 jun 2015 100609057 703x422

“OKUVA mu mwaka gwa 1997 nga ndi musajja wandwadde. Nnalumbibwanga endwadde eziwerako okwali omutwe, omusujja gw’olutentezi n’embiro ebyammalako emirembe. Ssaasooka kulowooza nti embeera eno yali eva ku bulwadde bwa siriimu.”

Nze Israel Nsereko,48 mbeera Lwamata mu Kiboga. Mu 2004 embeera yeeyongera okutabuka ne ntuuka n’okugwa ku ndiri. Mu mbeera eno mukulu wange Dan Musoke Kiwalabye mwe yansanga n’anyolwa nnyo.

Ono ye yankwata ku mukono n’antwala ewa Polof.Ssali eyali nnannyini Mariandina Clinic e Kamwokya gye bankeberera ne bazuula nga nnina akawuka ka siriimu.

Kye nnali nnina okukola okutaasa obulamu obwali buggwaawo kwe kutandika eddagala eriweweeza ku bulwadde buno erya ARVS.

Eddagala lino lyakomyawo mangu obulamu bwange ne nzira ne ku mirimu gyange. Wabula ensobi gye nnakola, bwe nnalaba nga sikyalina kinnuma kwe kuva ku ddagala lino okumala ebbanga lya mwaka mulamba.

Mu 2008 nnaddamu ne ngwa ku ndiri mu ngeri embi ennyo era nnakoma ku mugo gwa ntaana. Engeri gye nnali nsula obwomu mu nju nnabulwa annyamba.

Naye ne ku mulundi guno mukulu wange bwe yamanya ku mbeera gye nnalimu teyandekerera. Yanteeka mu mmotoka n’antwala mu Aids Research Centre e Mengo. Eno bampa ekitanda ne batandika okunnoonyerezaako n’okunziza ku ddagala.

Okuva olwo obulamu bwakomawo era siddangamu kulumbibwa bulwadde bwonna bummalako mirembe. Nsobola bulungi okutambuza emirimu gyange n’okuyimirizaawo amaka gange.

Nneebaza ebibiina eby’enjawulo ebivuddeyo okuyamba ku balwadde ab’ekika kino. 

Mu ngeri endala nkubiriza abantu bonna okuvaayo okwekebeza kibayambe okumanya bwe bayimiridde basobole okutandika obujjanjabi mu budde. Omuntu yenna ayagala okunneebuuzaako ku nsonga ezikwatagana n’obulwadde buno ndi ku ssimu: 0777330749.

 

Okuva ku ddagala kyanziza ku ndiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.