TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu by’oyinza okukolera munno n’asanyuka

Ebintu by’oyinza okukolera munno n’asanyuka

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd December 2015

KINO kye kiseera ekituufu gwe alumirirwa omukwano gwo wamu naawe agwagaliza okugenda mu maaso ky’olina okweyambisa okuguteekamu ggiya ennene.

Birabobb 703x422

KINO kye kiseera ekituufu gwe alumirirwa omukwano gwo wamu naawe agwagaliza
okugenda mu maaso ky’olina okweyambisa okuguteekamu ggiya ennene.

Nga tulindirira Ssekukkulu emaze okuweta ekkoona wamu n’enkomerero y’omwaka,
buli muntu alina munne yandibadde afaayo okumukolera eky’enjawulo ekimulaga nti
amufaako mu ngeri ey’enjawulo.

Wammanga bye bimu ku bintu bino:

1 Ekirabo. Mu kiseera kino ekirabo kabonero ka nkukulanala akakasa omuntu nti omufaako mu ngeri ey’enjawulo. Mu bulamu buli muntu alina ekirabo ekimusanyusa.
Ky’olina okukola kwe kunoonyereza ekika ky’ekirabo n’oluvannyuma okimuwe
mu ngeri y’obukodyo.

2 Muwaaneko. Funa ekintu eky’enjawulo mu bulamu bwa munno okisoosoowaze mu ngeri y’okumuwaana. Abakyala baagala nnyo okubawa obubonero mu ndabika songa abasajja ekibawa essanyu kwe kusiima engeri gye bakolamu emirimu.

3 Mutwaleko awutu. Ebifo ebisanyukikirwamu biri mu buli nsonda ya nsi. Wabula bangi ku bafumbo balowooza nti ebifo bino si byabwe era babiyitako buyisi.
Ku mulundi guno munno mutwalako mu kifo nga kino mulye ku ssente ng’enjogera
y’ennaku zino bw’eri. Kiyinza okuba ekyeggulo oba ne mukola enteekateeka
y’okumalayo ekiro waakiri kimu.

4 Munaanike empeta. Mmwe abatannafumbiriganwa mu butongole musobola
bulungi okukwata empeta ne muzeenaanika mu nkola ya ‘nkusibidde awo’. Kano kabonero akalaga nti mulina ekigendererwa mu mukwano. Ate mmwe abaayita mu mbeera eno, era mukyasobola okwejjukanya. Kino kijja kwongera obwesige mu munno.

5 Kyalira ku bantu be. Ggwe omukyala kwata ssente z’osobola obeeko ekintu ekikalu ky’ogulira maama wa munno bw’aba waali. Kiyinza okuba ekikooyi, omukeeka, ekitambaala n’ebirala. Ate ggwe omusajja oyinza okukyalira Ssengaawe oba bazadde
be n’obaako ky’obeetikkira. Bino byongera okuggumiza omukwano gwammwe.

6 Obubaka obuwandiike. Essimu n’emikutu gy’empuliziganya gigonzezza
nnyo ensonga z’omukwano. Munno muwandiikire obubaka obumwagaliza ennaku
enkulu n’omwaka nga weeyambisa obugambo obuggyayo obulungi ekigendererwa
kyo. Nammwe abatalina ssimu mukyayinza okukozesa obubaluwa.

7 Mumaleeko ennaku enkulu nga muli wamu. Mutandike olunaku n’okulumalako
nga muli wamu mu ngeri ya kabaani ku ndongo. Abafumbo bangi bagenda bokka
mu masinzizo era ne batuula bokka.

Ku mulundi guno munno tomuleka kugenda yekka newankubadde okutuula yekka. N’abaana bammwe nabo temubaleka mabega. Embeera eno ejja kwongera ebirungo
mu mbeera zammwe ez’obufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...