TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yanfunyisa olubuto n’atabuka

Omusajja yanfunyisa olubuto n’atabuka

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2016

Nagwawo ekigwo ng’ang’ambye ng’ende nduggyemu. Yangamba nti alina omukyala n’abaana tasobola kukkiriza nzaale kusattulula maka ge ne nkakasa nti ebbanga lyonna lye twamala yali ankozesa bukozesa.

Nanteza1 703x422

NEEVUMA ekyansuula mu mukwano amangu ne ntuuka okuwa omusajja ebyange byonna kyokka nga kati andaba ng’ekyonziira bwe yamala okufuna kye yali yeetaaga.

                                                                                                                                       

Nze Justine Nakavuma nga mbeera Bukomansimbi ne maama wange andabirira n’omwana wange ow’emyezi omusanvu.

Okudda eri maama andabirire tekwali kweyagalira naye omusajja yanfunyisa olubuto oluvannyuma n’ansuulawo ekyampaliriza okudda mu kyalo.

Nayagalana n’omulenzi ono okumala omwaka mulamba era okusinziira ku ngeri gye yampisaamu nga twakasisinkana, nakakasa nti nfunye omutuufu. Wadde yali muvuzi wa bodaboda naye embeera ze nnalaba nga zanjawulo ku balala abakola omulimu ogwo.

Olw’okumwagala ennyo twatuuka wala era nagenda okwekanga nga nfunye olubuto ne nsanyuka nga mmanyi nti munnange agenda kufa essanyu nga mutegeezezza.

Namuyita bulungi ne mutegeeza nga bwendi olubuto. Nali sinnamalayo n’akyukirawo era n’antegeeza nti sitawaana kwongerako, olwo olubuto nduggyemu!

Nagwawo ekigwo ng’ang’ambye ng’ende nduggyemu. Yangamba nti alina omukyala n’abaana tasobola kukkiriza nzaale kusattulula maka ge ne nkakasa nti ebbanga lyonna lye twamala yali ankozesa bukozesa.

Nabeera n’olubuto ne nzaala nga tampadde wadde ekikumi era muto wange ye yannyambako. Bwe nnamulemerako yampa emitwalo ebiri egyantwala ewa maama andabiridde okutuuka omwana wange bw’awezezza emyezi musanvu.

Omwana nze namwetuumira n’amannya era nnamuwa lya Najjuuko kubanga kitaawe ye Jjuuko. Kino kimpadde ekyokuyiga nti abasajja abamu bambala mpale naye nga tebalina buvunaanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...