TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi ansuulidde omwana ow’omwezi

Omukazi ansuulidde omwana ow’omwezi

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2016

Nagezaako okumubuulirira ng’omusajja ayagala mukyala we ne yeerema ne musindikako ewaabwe bamutuuze ne bigaana nnalabirawo ng’agenze ne nsigaza omukyala omu era ye we njogerera kati afumba.

Lwa 703x422

OBA abakazi baagala kiki nze sikimanyi! Nze Khalid Mukisa. Mbeera Wamala-Katooke. Nnalina abakyala babiri kyokka omu n’anoba naye saamanya nsonga kwe yava okwecanga.

Bakazi bange bombi nnali mbaagala bulungi ate nga n’eddiini endagira kuwasa bana bwe mba nnina obusobozi.

Nagezaako okumubuulirira ng’omusajja ayagala mukyala we ne yeerema ne musindikako ewaabwe bamutuuze ne bigaana nnalabirawo ng’agenze ne nsigaza omukyala omu era ye we njogerera kati afumba.

Ndowooza abasajja mukiraba lwaki abasajja basalawo okufuna abakyala ababiri oluusi omukyala omu bw’aba teyatuuzibwa bulungi oba ng’alumya omutwe ng’osigaza omulala wadde ate abamu babeera n’omu ne babafuniramu eddembe.

Kale nze bwentyo nnali nsazeewo nfune ababiri ngera manyi mbasobola naye oyo ke yagenze kansigale ne mukyala wange omu.

Gibadde giweze emyezi 10 bukya mukyala oyo agenda kyoka abadde yanoba n’olubuto.

Olwazadde omwana naweza omwezi gumu,n’amunsuulira ku mulimu. Nze nabadde sinagaana ku
kyakumuwa buyambi naye bwatyo amagezi ge bwe gaamugambye. 

ηηenze n’omwana ono mu b’amateeka bamanye ekyantuuseeko omukazi aleme kujja kumpawaabira nti n’amubbako omwana omuto bwati ng’abamu bwe bakola.

Naye ekyebuuzibwa omwana mukole ntya, amagezi ganeesibye simanyi wakuggya maama wa mwana ono kati oba mutwale mu bitongole ebikuza abaana?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza