TOP

Omusajja eyandesa omulimu ansuddewo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2016

Nze Rosemary Mwagale nga mbeera Katabi e Ntebe, nali mu mukwano ogw’amaanyi ne munnange eyansanga nga nkola mu kawooteeri akamu mu kibuga nga neefunira ensimbi zange ez’ekikazi nga neebeezaawo.

Sober1 703x422

ABAWALA abeesigulira ku basajja ne batuuka n’okubalesa emirimu gyabwe mwe baggya ensimbi nga babasuubizza eggulu n’ensi mukimanyi nti mwesuula mu ntata!

Nze Rosemary Mwagale nga mbeera Katabi e Ntebe, nali mu mukwano ogw’amaanyi ne munnange eyansanga nga nkola mu kawooteeri akamu mu kibuga nga neefunira ensimbi zange ez’ekikazi nga neebeezaawo.

Omukwano bwe gwagenda gweyongera, twasalawo tutandike okubeera ffenna ng’abaagalana.

Wabula nga mmaze okufuna olubuto ne nzaala n’omwana embeera z’omusajja zaakyuka.

Eyali ampa buli kimu, nga takyayagala kumpa yadde ekikumi. Yatandika n’okuddanga amatumbibudde.

Lumu yakomawo awaka n’angamba nti ankooye takyayagala kundaba waka. Namubuuza ensonga etuuse okumutabula nga yeesooza bwesooza.

Yagenda mu maaso n’embeera ze era lumu yafuluma okugenda okukola n’andaalika obutansangawo nti era bwe nnaamwesibako ekinaddako ssijja kukyagala.

Namwegayirira ne tuddamu ne tukwatagana naye ne nfunanga embuto ez’omuddiring’anwa naye nga zonna zivaamu.

Yaddamu okutabuka ng’ayagala muviire. Nagenda okulaba nga sibisobole kwe kusalawo ntandike okwetetenkanya ndabirire omwana wange.

Omwana ng’awezezza emyaka esatu yali azannya ne banne ne bamufumita akambe mu liiso ne litandika okukulukuta.

Omusajja nnagezaako okumukubira essimu mutegeeze ebyatuuse ku mwana naye nga takwata.

Omwana namutwala mu ddwaaliro e Mengo gye bansaba akakadde ka ssente. Bikyannemeredde kuba sirina mulimu mwe nfuna nsimbi.

Abazirakisa abaansanga mu ddwaaliro be bamu ku bannyambako okunsasulirako 400,000/- nga kati nnasigala bammanja 600,000/-.

Nfubye ng’omukazi okunoonya omulimu naye mbuliddwa kyokka nga ne landiroodi we nsula kati ammanja emyezi egiwera era kati ndi mu bweraliikirivu nti agenda kungoba mu nju.

Ekinnuma omusajja ono musuubuzi munene naye tatoola yadde ekikumi okulabirira mutabani we.

Mu kiseera kino nejjusa lwaki nalekawo akalimu kange ne mpaala  n’omusajja.

Abazirakisa munnyambe okumpa omulimu nfune ensimbi ezindabirira n’omwana nga ndi ku ssimu 0774 384649.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jit11 220x290

Bawangudde mu mpaka z’okufumba...

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV

Mub1 220x290

Pulezidenti ayimirizza omusolo...

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Lip1 220x290

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro...

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n'amukontola

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako