TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abawala bye bakola okwegula eri abasajja

Abawala bye bakola okwegula eri abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2016

Abawala bangi ensangi zino batoola ssente ne bazitonera abasajja be beegwanyiza mu mukwano. Abawala ab’omu matendekero aga waggulu bamanyi n’okukwata ku fiizi zaabwe ne baziwa abalenzi bano.

Kazi 703x422

Aboomukwano nga bali mu laavu. Baabadde ku Ambiance e Bukesa.

ENSONGA z’omukwano zikyuse ensangi zino. Gye buvuddeko ng’omusajja y’atoola ensimbi n’awa omuwala gw’ayagala mu ngeri y’okumukwana. Wabula mu kiseera kino abawala bangi abakyali ku mudaala omuli n’abo abali mu matendekero aga waggulu, beegula lutali luno eri abasajja okubaganza. Ate n’abasajja bafuuse bakuuzi anti bayitirizza okwagala eby’obwereere.

Wammanga bye bimu ku bintu bye bakola ebiraga nti beegula.

Babawa ssente enkalu;

Abawala bangi ensangi zino batoola ssente ne bazitonera abasajja be beegwanyiza mu mukwano. Abawala ab’omu matendekero aga waggulu bamanyi n’okukwata ku fiizi zaabwe ne baziwa abalenzi bano.

Babawola ssente

Abalenzi b’ennaku zino tebakyafa bwavu. Obwavu bwe bumuluma akwata bukwasi ssimu n’akubira omuwala yenna gwe yeegwanyiza n’amusaba okumuwolayo ku ssente.Abawala bangi mu mbeera eno bagwa ne ku mabanja ne beewola ssente ne baziwa abalenzi bano.

Babatonera ebirabo

Abawala ba leero bakwata kisooka mu kutonera abasajja ebirabo. Abawala bagula ebirabo okuviira ddala ku bitono ng’essimu, kkamera, empale, essaati, essuuti n’okutuukira ddala ku binene ng’emmotoka. Omusajja alabira awo ng’ekirabo nga kino kimutuuseeko. Ate oluusi n’abazadde babayambako bwe baba basiimye omulenzi.

Batwalako ‘awutu’

Abawala balina enkola y’okutwala abalenzi be baganza mu bifo eby’enjawulo omuli amazina, emizannyo, mu bifo ebisanyukirwamu, ebweru w’eggwanga n’ebirala ne babasasulira kalonda yenna. Mu mbeera eno omusajja ayinza obutateekamu nnusu ye n’emu.

Basasula ennyumba

Omuwala oluba okulaba omulenzi gw’ayagala n’amanya ne w’asula ekiddirira kwe kunona ssente n’asasula ennyumba emyezi egiwerera ddala. Kuno kw’agatta okugulira mu nnyumba eno ebintu nga ppaasi, ttivvi, ebyokulya ne kalonda omulala. Abamu omusajja bw’aba azimba amuyambako.

Babatwalira emmere, ku mulimu

Omuwala ow’ekika kino tekimugaana kwetikka mmere nfumbe oba ebibala n’abitwalira munne ku mulimu oba awaka. Kuno kwe bagatta ebyokulya ebirala bye bagula mu ‘supamaketi’ ne babitwalira abasajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...