TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala gwe naweerera andese mu bbanga

Omuwala gwe naweerera andese mu bbanga

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2016

OMUWALA gwe nakwata ku mukono ne mmuweerera amalirize okusoma tukole amaka, gye biggweeredde ng’anjiye.

Tikira 703x422

OMUWALA gwe nakwata ku mukono ne mmuweerera amalirize okusoma tukole amaka, gye biggweeredde ng’anjiye.

Nze Baker Ssemakula nga mbeera Namasuba. Mu 2008 nalaba omuwala Sophia n’antwala omutima bwe twali tugenze ku ssomero erimu erya siniya e Kasana mu kukubaganya ebirowoozo.

Namutokoterawo ne ndaba nga naye mmututte ebirowoozo okukkakkana nga tuwaanyisiganyizza ennamba z’essimu okwongera okumanyagana.

Waayita ebbanga ttono nze ne maliriza okusoma ne nfuna n’omulimu nga ye asigadde akyasoma.

Lumu yatoloka ku ssomero ekiro ng’agenze kulaba kazanyo ku ttivvi ne bamukwata.

Ekibonerezo ekyamusalirwa kyali kya kugobwa ku ssomero nga bamwekengedde okuwaganyaza bayizi banne. We baamugobera baali mu lusoma lwakubiri ne bamulagira kuddayo kukola bigezo bya kamalirizo ebya S4.

Kitaawe bino olwamugwa mu matu yatabukirawo n’agaana okumwongera fiizi. Sophia yankubira essimu okumbuulira embeera eyaliwo nga yenna asobeddwa ekiddako.

Saali mubi ne nnoonya fiizi ne tufuna essomero eddala gye yasomera ebbanga eryali lisigadde okutuusa lwe yaddayo okukola ebigezo ku ssomero liri gye baamugoba.

Twatandika okukolagana okukkakkana ng’obuvunaanyizibwa bwa fiizi nze mbututte.

Yansuubiza okunnyanjula ewaabwe ng’amalirizza okusoma. Mu kusooka yagamba maama we nga bwendi mukwano gwe nga nsuubira atya okumugamba eby’omukwano.

Ebibuuzo byakomawo ng’ayise bulungi n’ansaba nnyongere okumuweerera mu S5. olw’engeri gye nali mmwagalamu, saasikattiramu. Namutwala mu ttendekero e Wandegeya mu 2011 n’asoma ebyamawulire ng’ahhambye nti asulayo.

Waliwo mikwano gye abanzibula amaaso nti yali tasula ku ssomero ng’agendayo ku makya.
Natabuka n’asalawo okujja ewange wabula nali ntuddeko awo mu ddiiro ne wabaawo amukubira essimu ng’agenze okunaaba.

Oluvannyuma lw’obutagikwata, eyakuba yamusindikira obubaka nga bugamba: ‘Okuva lwe wamaliriza okusoma tokyampa budde.’ Nawulira obusungu ne mmugoba ekiro ekyo ng’essaawa ziri mu 6.00. yakaabira ku luggi ekisa ne kinkwata ne mmuggulira ne yeebaka.

Yagaana okukola bye yali asomeredde n’ansaba ssente agende e Southern Sudan akolere eyo. Nazimuwa naye mu kugenda we yantegeereza nga bw’ali olubuto.

Bwe waayita ekiseera ne nfuna amulondoola okuzuula by’akola era ekyanzigya enviiri ku mutwe kwe kumugwako ng’akola bwamalaaya.

Eno nasigala nkyaweereza nnyina obuyambi era mu 2013 yakomawo ne tupanga agende e Dubai oluvannyuma lw’okwegaana okukola obwamalaaya.

Wabula bukya agenda siddangamu kumuwuliza era tankiinangako kumpeerezaayo yadde 100/-. Ndi wano nejjusa obudde, ssente n’omutima gwange bye namuwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako