TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja atuuse okunzitira mu nnyumba

Omusajja atuuse okunzitira mu nnyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 8th February 2016

Waliwo abafuuka ekirala abakuba emiggo ne bakirako abakuba ente! Nze Keren Niwabinge, 30, nga mbeera Nakabugo ku lw’e Mityana.

Manya1 703x422

Niwabinge ng’azimbye eriiso.

OMUSAJJA omutamiivu kkoyi! Akumalako emirembe mu mbeera zonna. Bw’anywa n’agangayira afuuka ekizibu kuba ava ku kutagala n’okwogera buli ky’asanze ng’atambula n’atuuka ku kukuwunyiriza omwenge nga muli mu kitanda.

Waliwo abafuuka ekirala abakuba emiggo ne bakirako abakuba ente! Nze Keren Niwabinge, 30, nga mbeera Nakabugo ku lw’e Mityana.

Baze antamizza obufumbo kuba buli lw’anywa omwenge ankuba emiggo. Omukwano gwaffe ne Edson gwatandika mu 2011 ng’obufumbo tubumazeemu emyaka mukaaga.

Twasooka kubeera mu ssanyu ng’obufumbo bwaffe bweyagaza kyokka bwe yatandika okuteeka omwenge mu ttama, emberenge n’egaga.

Yasooka kunkolera bbaala awaka we tusula e Nakabugo kubanga omulimu gwe nali nkola ogw’okulima gwali gunkooya ate nga nfuna ssente ntono.

Okuva bwe natandika okutunda mu bbaala omusajja yatandika okummalako emirembe olwo essanyu ne linzigwako.

Omusajja asiiba mu bbaala ng’anywa mwenge! Kino kinafuyizza omulimu olw’ebbuba ly’akola kuba tanzikiriza kuweereza bakasitoma basajja era buli lw’andaba nga mbasemberera ng’atabuka oluusi n’okunkuba.

Takomye ku kunkuba kwokka wabula tafaayo na kulabirira maka wadde okuweerera omwana omu yekka gwe tulina.

Bwe nalaba nga talabirira mwana ate nga ne ssente ze nfuna mu bbaala azitwala ne nziramu okupakasa nsobole okuweerera omwana.

Wabula mpulira sikyasobola kugumiikiriza miggo kuba atuuse n’okunzita. Olukyasembye yankubye eriiso n’annuma n’ebbeere olw’okundaba nga ntwalira omusajja omwenge.

Ekintabudde ly’ebbuba eriyitiridde ly’ayolesa kati obutanzikiriza kusemberera basajja ate nga ye yankolera ebbaala. Ntandise okutya nti omusajja yandinzitira mu nnyumba olw’engeri gy’ankuba.

Nswadde mu bannange olw’ebisago bye nfuna olumu ne mpalirizibwa n’okubalimba ku kibeera kintuuseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe