TOP

'Facebook' esse embaga yange

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2016

Nasoma busawo era olwamala okusoma, nava e London gye nasomera ne nkomawo mu Uganda nsobole okuwa omulenzi wange akadde akamala.

Saba1 703x422

BAKAZI bannange, mbasaba mwesonyiwe facebook ne WhatsApp kubanga abantu abatakwagaliza bayinza okubyeyambisa ne bakukyayisa munno. Nze Fiona Nsubuga ow’e Makindye ku lw’e Salaama.

Nasoma busawo era olwamala okusoma, nava e London gye nasomera ne nkomawo mu Uganda nsobole okuwa omulenzi wange akadde akamala.

Laavu yaffe ebaddemu obulamu nga buli kadde tuba mu biduula, anti nakomyewo ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Awo we twasaliddewo okukola bizinensi ezitubeezaawo omuli situdiyo y’ennyimba n’ebifaananyi era nga tugiddukanya ffembi.

Mu October w’omwaka oguwedde, omulenzi wange yantegeezezza nga bw’ayagala mmutwale ewaffe mmwanjule mu bakulu.

Kyokka essanyu lyange lyabadde lya kiyita mu luggya, anti omukolo ogwabadde ogw’okubaawo mu March (omwezi ogujja) tegukyabaddewo.

Omuntu omu ow’ennugu yakozesezza obukugu bwa kompyuta n’akwata ebifaananyi byange n’abigattagatta n’abissa ku muko gwange ogwa Facebook ne WhatsApp nga biraga nti mpepeya n’abasajja abalala.

Ebyembi, yalaze ng’ebifo bye tucakaliramu by’ebyo byennyini bye ncakaliramu n’omulenzi wange bulijjo.

Teyakomye awo, ebifaananyi bino yabisindise mu ‘group’ ez’enjawulo nga kumpi buli omu abiraba!

Biraga ng’omusajja annywegera ate ebirala bindaga nga ndi bute nga bwe nazaalibwa. Bino omulenzi wange olwabikubyeko eriiso, n’atabuka era yamaze wiiki nnamba nga tadda waka.

Olwakomyewo, yakuttemu engoye ze n’agenda gye simanyi. Kyokka nagudde ku bifaananyi bye ku Facebook ng’ali mu nnyonyi era ng’asiibula nti, ‘Bye bye Uganda.’

Nawunze era n’okutuusa kati sinnatereera. Mmusaba wonna w’ali, bambi ansonyiwe akomewo mmwanjule ankube n’embaga nga bwe tubadde tuteeseteese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima