TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebyokulya ebiyamba omusajja okusamba 90 e Namboole

Ebyokulya ebiyamba omusajja okusamba 90 e Namboole

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2016

EMBEERA y’omusajja omufumbo obutamalaako mu nsonga z’ekisenge teba nnyangu eri oyo gwe kituuseeko. Eno emuviirako obutaba musanyufu mu mbeera z’obulamu bwe obwa bulijjo aba munyiikaavu, yeekubagiza era buli bbanga atambulira mu nkuyanja ya birowoozo.

Komba 703x422

Omusajja ng’agula enva endiirwa. Singa omusajja yeemanyiiza okuzirya tayinza kukaluubirizibwa kusanyusa munne mu kisenge.

EMBEERA y’omusajja omufumbo obutamalaako mu nsonga z’ekisenge teba nnyangu eri oyo gwe kituuseeko. Eno emuviirako obutaba musanyufu mu mbeera z’obulamu bwe obwa bulijjo aba munyiikaavu, yeekubagiza era buli bbanga atambulira mu nkuyanja ya birowoozo.

Buli budde bw’okudda awaka lwe butuuka n’alowooza ku mirimu gy’omu kisenge gy’ataasobole kutuukiriza wamma musajjawattu ne yeevuma abuzibizza.

Abasajja bangi mu kiseera kino olw’ensonga ez’anjawulo batambulira mu mbeera eno ey’obutamalaako.

Abamu nno baboneka bubonesi nga mwezi. Ensonga y’obutamalaako temala ku musajja yekka ssanyu wabula ne munne gwe yakeera enkya n’aleeta okumufumbira.

Gye biggweera nga munne essanyu alinoonyerezzaako ebbali ekiyinza ate okuvaako ebizibu ebirala njolo omuli n’okuyoola obulwadde bw’ekikaba omuli ne siriimu.

Okulya obulungi tekuyamba muntu kuba mulamu na kulabika bulungi kyokka wabula emmere ddagala kkulu eriyamba omusajja agwa mu kiti kino okutereeza embeera ze ez’ekisenge.

Nnaalongo Joyce Nakawuma ow’e Nansana yagambye nti; “Ebyokulya nga entungo, ebinyeebwa ebibisi ne kawo biyamba omusajja okufuna amazzi ku mugongo agayamba okutambuza ensonga z’ekisenge.

Ate emmere y’omu ttaka nga balugu, ebikongo, amayuuni ne kyettumula erimu amazzi aganaanuuka nga gano kakola kinene mu kuddaabiriza n’okugumya ebinywa.

 

Emmere eri mu kikula ky’obusajja nga gonja, obukupa, bogoya nayo omusajja bw’agyettanira erina engeri gy’emuyamba n’asaza kimu.” bw’agamba.

N’agattako nti emirondo n’emmwaanyi nabyo birimu ekirungo ekigogola emisuwa olwo omusaayi ne gutambulira ku sipiidi eya waggulu.

Emmere endala eyamba mulimu;

1 Amenvu

Gano gajjudde ekirungo ekiyitibwa ‘potassium’ ekiyamba okukkakkanya puleesa n’okuyamba ku ntambula y’omusaayi. Mu ngeri endala gayamba ku bungi bw’obusimu obukola ku nsonga z’okwegatta mu basajja. Lyayo waakiri eryenvu limu buli lunaku

2 Beetroot:

Bino bibala bya mu ttaka. Abakugu bagamba nti kino kijjudde ebirungo eby’enjawulo wamu n’ekipimo ky’amazzi ekiwerera ddala. Kigambibwa nti kirimu obuwuka ekika kya ‘bakitiriya’ nga buno bwe butuuka mu kamwa bukola empewo eyitibwa’nitric oxide’ eyamba ennyo ku ntambuza omusaayi.

Mu mbeera y’omusajja omufumbo entambula y’omusaayi evunaanyizibwa kinene nnyo mu nsonga z’ekitanda.

Mu ngeri biraze endala ebibala bino biyamba ku kwongera ku bungi bw’omusaayi mu mubiri.

4 Oats:

Oats zikola nnyo mu kutereeza ensonga z’abasajja ez’omu kitanda. Zirimu ekiriisa ekiyitibwa ‘arginine’ ekyongera ku kika ky’obusimu ekiyitibwa ‘testosterone’ eky’omugaso ennyo mu nsonga z’ekisenge.Buli busimu bwa kika kino lwe bujjula mu musaayi, omusajja afuna obwagazi obutaliiko kkomo. Zino oyinza okuzirya waakiri emirundi ebiri mu wiiki.

5 Ennyaanya:

Zino nkulu mu nsonga z’ekisenge olw’ensonga nti zikola butereevu ku nsonga z’omutima.
Zirimu ekirungo ekiyitibwa ‘lycopene’ ekigenda obutereevu ku mutima ne kiguyamba okukola obulungi omulimu gwagwo naddala ogw’okukuba omusaayi. Lya embisi waakiri emirundi ebiri mu wiiki.

6-Chocolate

Cocoa abeera mu chocolate ajjudde ebirungo ebiyitibwa ‘flavonoids’ ne ‘antipxidants’ ekiyamba ennyo mu kulongoosa ensonga ezeekuusa ku ntambula y’omutima.

Omutima omulamu obulungi gukuba omusaayi ne gusobola okutuuka mu buli nsonda ya mubiri omuli ne mu busajja.

Ye Roller Ahumuza omukugu mu migaso egiri mu byokulya akolera mu ddwaaliro e Naggulu agamba nti ebiryo nabyo bikwata kifo kya kumwanjo mu kuyamba abasajja okutuukiriza obulungi ensonga z’ekisenge.

Agamba nti bino birimu ekiriisa kya ‘minerals’ ekirwanyisa endwadde ne kiyamba omuntu okuba omulamu obulungi n’asobola okumalako.

Ahumuza ayongerako nti ebibala omuli emiyembe,emicungwa,wootameroni ,obutunda,ennanansi n’ebirala birimu ekiriisa kya potassium ne vitamiini C ebiyamba omusajja okuba omulamu obulungi n’asobola okumalako mu nsonga z’abafumbo.

Wabula agamba nti omusajja okulya ennyo emmere ey’amasavu kimulemesa okukola obulungi emirimu gy’obufumbo.

Agamba nti amasavu agayitiridde omubiri gugatereka ekivaako omugejjo ne kikosa mu nkola y’emirimu gy’abafumbo.

Awa n’abasajja abafumbo okukola dduyiro okusala amasavu n’okukuuma emibiri gyabwe nga giri ‘ffiti’ obudde bwonna.

Alabula n’abantu okulya ekyeggulo mu budde obw’ekiro ennyo.Agamba nti omukkuto gulemesa omusajja okutuukiriza obulungi emirimu gy’ekisenge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.