TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obutayosa ddagala kiyambye baze obutakwatibwa

Obutayosa ddagala kiyambye baze obutakwatibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2016

OMWANA wange asooka namuzaala mu 2000 ng’olwo nkyali waffe e Kyazanga mu Lwengo. Oluvannyuma lw’okuzaala waliwo munnange eyankwata ku mukono n’andeeta e Kampala ne nfuna omulimu mu wooteeri emu mu katale e Kibuye.

Fuga1 703x422

Muzenero

OMWANA wange asooka namuzaala mu 2000 ng’olwo nkyali waffe e Kyazanga mu Lwengo. Oluvannyuma lw’okuzaala waliwo munnange eyankwata ku mukono n’andeeta e Kampala ne nfuna omulimu mu wooteeri emu mu katale e Kibuye.

Nze Nnaalongo Pheobe Muzenero 34, mbeera Kalyango, Kibiga mu Kiboga.

E Kibuye gye nafunira omusajja omulala gwe nafunamu olubuto mu 2004 ne nzaala mu 2005. Omukwano gwaffe gwatambula bulungi bwentyo ne mmufunamu olubuto olwokubiri.

Ku mulundi guno bwe nagenda okunywa eddagala mu dddwaaliro e Mulago, abasawo banzigyako omusaayi ne bakantema nga bwe nnalina akawuka.

Natya nnyo era n’amaanyi ne ganzigwamu okutuusa abasawo bano lwe bambudaabuda ne nzira eka.

Bwe natuuka eka, nabulwa engeri gye ntegeezaamu taata w’abaana. Kye nakola, kwe kumusendesenda tugende ffembi mu ddwaaliro okwekebeza okumanya bwe tuyimiridde. Ye baamusanga ali bulungi ate nga nze nnina.

Tweyongerayo mu malwaliro mangi era ne bazuula embeera y’emu. N’okutuusa essaawa ya leero buli lwe tufuna akadde twekebeza kyokka era tewannabaawo kikyukako.

Munnange yakkiriza okusigala nga tuli bafumbo era eno y’ensonga lwaki mu 2011 twafunayo n’ezzadde ly’abalongo. Eky’okukozesa obupiira yakigaana ng’agamba nti tebumukolera bulungi .

Bo abasawo bansaba obutava ku ddagala nga bagamba nti ssinga ndimira mu biseera ebituufu Ssaalongo tasobola kukwatibwa.

Bang'amba nti nze nnyimiriddeko obulamu bwe olw’okumira obulungi eddagala eriweweeza ku siriimu.

Eno y’ensonga lwaki eddagala ndimira mu budde era siryosa. Bwe wabaayo omuntu oba ebibiina ebyandyagadde okubaako engeri gye bituyambamu n’okutuwanirira tuli ku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Baby 220x290

Eyanzaalamu n'annemya emisomo anneefuulidde...

NZE Judith Kyampiire 22, mbeera mu Good Hope Makerere Kavule mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ssenga1 220x290

Maze omwaka mulamba sirwala

NNINA emyaka 27 naye maze omwaka gumu nga sirwala era sifuna lubuto. Osobola okunfunira ku ddagala ne ntandika...

Ronaldo 220x290

Ronaldo yandikomawo ku mupiira...

Ronaldo okutuula ogwa Young Boys olwo akomewo ku gwa ManU.

Pavon 220x290

Arsenal etandise enteeseganya ne...

Pavon yazannyira Argentina mu World cup mu June omutindo gwe ne gucamula ttiimu nnyingi.

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...