TOP

Ebiraga omukwano ogutalina lugendo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2016

ABANTU bangi babeera mu mukwano nga buli omu agulaba tegulina lugendo naye ng’abagulimu tebakiraba

Bera 703x422

Abaagalana nga bafunye obutakkaanya

ABANTU bangi babeera mu mukwano nga buli omu agulaba tegulina lugendo naye ng’abagulimu tebakiraba. Wabula bw’olaba ng’obubonero buno butandise okweyoleka bw’oba tosobola kukyusa mbeera kiba kirungi omukwano ogwo n’oguvaamu ng’obudde bukyali.

  • Obuggya n’obutakwesiga: Zino ze zimu ku nsonga ezisinga okulaga omukwano ogutaawangaale. Munno bw’aba akulinako obuggya oba ebbuba erisukkiridde oyinza okwetamwa.
  • Obusungu n’okuyomba buli kiseera: Omuntu abeera buli kiseera nga munyiivu atera okuba omuzibu era kano kabonero akalaga nti oyinza obutasobola kubeera naye.
  • Obwenzi :Omukwano ogulimu obwenzi tegutera kuwagala kuba tewaba bwesigwa ate nga kino kikulu nnyo mu nsonga z’omukwano.
  • Obutasonyiwa: Omukwano ogutaliimu kusonyiwa nga munno akusobezza kaba kabonero akalaga nti guli mu matigga
  • Obuteewa kitiibwa: Omuntu atakuwa kitiibwa nga mukyali mu mukwano aba akikwolese nti ne mu bufumbo tajja kukikuwa.
  • Obutafaayo ku munno: Abantu bangi basuulirira bannaabwe nga tebabawa budde bumala olwensonga ezitali zimu, naddala abasajja batera obutafaayo kusanyusa bakyala bwabwe. Omuntu atakufaako ebiseera ebisinga aba takwagala era kiba kizibu okuwangaala.
  • Omukwano ogulimu okwekwekerera buli kiseera kabonero akalaga obutali buwangaazi kubanga mulina okubeera abeerufu mu buli nsonga. Naye omuntu atayagala kukulaga mikwano oba bahhanda ze aba takulaba nga gwanaabeera naye.
  • Okukulembeza ebyenfuna: Buli lw’okulembeza ssente mu mukwano kaba kabonero akalaga nti temujja kuwangaala kuba ssente bwe ziggwaawo omukwano tewaba.
  • Ensonga z’omu kisenge: Zino nkulu era omukyala oba omusajja bw’aba tafuddeeyo kuzitereeza guba muzibu okuwangaaza.
  • Okwetonda: Omuntu ateetonda ng’akoze ensobi kaba kabonero akalaga omukwano ogutasobola kuwangaala kuba aba tagussaamu kitiibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo