TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 5 ebimalamu abawala ba leero mu mukwano

Ebintu 5 ebimalamu abawala ba leero mu mukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2016

ABAWALA ba leero balina ebigendererwa mu mukwano. Kino kitegeeza nti ng'omusajja tonnatandika mukwano na muwala yenna kikwetaagisa okumanya ekigendererwa kye mu mukwano owone okutomera.

Teri1 703x422

Abaagalana nga beeraga amapenzi. Baabadde ku Club Ambiance Bukesa gye buvuddeko.

ABAWALA ba leero balina ebigendererwa mu mukwano. Kino kitegeeza nti ng'omusajja tonnatandika mukwano na muwala yenna kikwetaagisa okumanya ekigendererwa kye mu mukwano owone okutomera.

Wammanga bye bimu ku bintu bino;

  • Ensimbi Bangi ku bawala ennaku zino bayingira omukwano ng'ekigendererwa kyabwe ekikulu kufuna nsimbi. Ow'ekika kino ne bw'aba omusajja gw'afunye tamwagala atandikirawo okumuteeka ku nninga ku nsonga y'ensimbi. Omuwala bw'amala n'omusajja ekiseera nga tamuwa ku nsimbi ng'olwo atambulamu.
  • Eby'okulya n'okunywa Waliwo abawala ng'obamma ekirala kyonna n'obagulira omwenge n'ebyokulya ebirala. Omusajja amanyi okugula omwenge n'ebyokulya nga chipusi, enkoko n'ebirala abawala babettanira nnyo olwo ne bajjula oluwombo lwa laavu.
  • Okweraga Abawala ennaku zino baagala nnyo obutaala. Bettanira nnyo abasajja ab'erinnya omuli abasambi b'omupiira, Bannabyabufuzi ne basereebu abalala. Mu ngeri endala baagala nnyo abasajja abalina ebidduka. Omukazi bw'atuula mu mmotoka y'omusajja n'asowola ng'amaze.
  • Endabika y'omusajja Abasajja abalabika obulungi bakuba nnyo abawala. Nga wasanze omusajja alabika obulungi bangi abawala babeeseza lweyo. Naddala abasajja abakola omubiri wamu n'abalaasi abawala bangi babettanira.
  • Abasajja abacakaze Abawala bangi bettanira nnyo abasajja abadigize n'abo abamanyi okulya obulamu ne kkaasi. Omusajja ow'ekika kino abawala abeesalako bwesazi era ebiseera ebisinga bamanyi n'okubalwanira. Kale ggwe anoonya omuwala ow’okuwasa bino sooke obyekenneenye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...