TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Taata w’abaana adduse n'atuleka mu bbanga

Taata w’abaana adduse n'atuleka mu bbanga

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2016

Omusajja olwamuzaalira yasalawo kunzirukako n’andeka nga mbonaabona n’abaana. Nze Jolly Amumpiire, 25 nga mbeera Mutungo.

Under 703x422

Amumpiire n’abaana bba be yamulekedde.

NALI mmanyi nti bw’ozaalira omusajja, oba omwefunzizza nga buli ky’oyagala oyogera bwogezi n’akuwa.

Naye omusajja olwamuzaalira yasalawo kunzirukako n’andeka nga mbonaabona n’abaana. Nze Jolly Amumpiire, 25 nga mbeera Mutungo.

Omulimu gwe nkola gwa kwoza ngoye ku kyalo. Natuuka nga nfuna omusajja Julius eyandaga laavu etaalimu kacica yenna, nange mu kumusasula ne mmuzaalira abaana babiri.

Kati omukulu wa myaka 5 ate omuto wa myezi 10. W’osomera bino, nga Julius yanziruseeko n’atwala n’ebintu byonna kyokka n’andekera abaana.

Baze yasooka n’ambulako okumala wiiki emu nga n’essimu teriiko naye n’akomawo nga February 18, 2016.

Namubuuzizza gy’ava n’ahhamba nti yabadde agenzeeko waabwe. Nalowoozezza nti bituufu ne hhenda okukola ogwange ogw’okwoza, ye ne mmuleka awaka.

Bwe yalabye nga ng'enze, n’aleeta emmotoka n’atikkako ebintu by’omu nnyumba byonna n’agenda gye simanyi.

Nakomyewo okuva okukola ng’enju entunuulidde! Anti yabaddemu ngoye zange n’ez’abaana ng’ebintu ebirala yabitutte.

Okuva ku olwo, nkuba ku ssimu ye teriiko ate simanyi gy’azaalibwa wadde owooluganda lwe yenna. Mmanyi kimu, yang'amba nti bamuzaala Soroti.

Omwana omukulu yali asoma naye kati takyasoma ate ne labdiroodi yatugobye mu nnyumba.

Kati nsula ku lubalaza ate bwe nagenze ewaffe, abazadde bangobye nga bagamba nti nsooke ntwale abaana ewaabwe.

Nsaba abazirakisa bampe ku magezi nfune we mbeera n’omwana wange addeyo ku ssomero.

Ndi ku 0777464353. Godfrey Kabuye omukugu mu kubuulirira abantu okuva mu Lime Light Counselling Centre e Kasangati agamba:

Genda mu FIDA mu bakwasaganya ensonga z’amaka, bajja kukuyambako ku baana. Ate genda mu maaso n’omulimu gwe wali okola eby’omusajja obireke weekulize abaana bo.

Nkubiriza abakyala okufangayo okumanya ebikwata ku basajja bammwe nga temunnabazaalira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...