TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Maama w’abaana yakkiriza okunfumbirwa mu bulwadde

Maama w’abaana yakkiriza okunfumbirwa mu bulwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2016

Mu butuufu saalowooza nti nnyinza okuba n’akawuka ka siriimu okutuusa muto wange lwe yandeetera omusawo awaka eyan­zigyako omusaayi. Ono ye yazuula nga bwe nnalina akawuka.

Ssemo 703x422

Ssemogerere

 

 NNALI ddere­eva ku siteegi y’e Namasuba,-Zzana mu Kalittunsi okumala emyaka 13. Ekyannemesa okugenda mu maaso n’omulimu gwange bwe bulumi bw’amagulu obwanz­ingako.

Nze Deo Ssem­wogerere 46, mbeera Temangalo mu Wakiso. Mu 2006 embeera z’obulamu bwange zaakyuka. Amagulu gan­numa ne gantuusa mu mbeera y’obutakyasobola kuvuga mmo­toka bwentyo ne nzira ewa muto wange okufuna obujjanjabi.

Mu butuufu saalowooza nti nnyinza okuba n’akawuka ka siriimu okutuusa muto wange lwe yandeetera omusawo awaka eyan­zigyako omusaayi. Ono ye yazuula nga bwe nnalina akawuka.

Mu mwaka ogwo ogwa 2007 yantwala mu ddwaaliro e Mulago ne ntandika obujjanjabi. Nna­tandikira ku septrine okutuusa emyaka ebiri n’ekitundi egiyise lwe banteeka ku ARVS.

Eddagala linkoledde omulimu ogutagambika kubanga okuva olwo, embeera y’obulamu bwange yalongooka. Amagulu agaali gan­suza nga nkikijjana gaawona era mu kiseera kino nsobola bulungi okuddukanya emirimu gyange egy’okulima.

Wabula wakati mu mbeera y’obulwadde, nnafuna omukyala. Newankubadde nnamubuulira ku mbeera y’obulamu bwange, yakkiriza okunfumbirwa era kati myaka munaana nga tuli mu bufumbo mwe tuzaalidde abaana. Omukyala n’abaana tekuli alina bulwadde buno.

 Mu kiseera kino nkola gwa ku­lima kyokka ssente ezivaamu tezin­sobozesa kufuna bujjanjabi na kweyi­mirizaawo. Ate ne bannange ku siteegi bandekerera.Wano we nsabira asobola okubaako engeri gy’annyambamu naddala ey’okumpa omulimu gw’obwa ddereeva okuntu­ukirira ku ssimu: 0774012154

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...