TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’olina okumanya ku musajja gw’ogenda okufumbirwa

By’olina okumanya ku musajja gw’ogenda okufumbirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2016

By’olina okumanya ku musajja gw’ogenda okufumbirwa

Se1 703x422

Abaagalana baabadde ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

ABAWALA abakyali ku mudaala bwe bafuna abasajja be basuubira okubawasa, bangi bapapirira ne batuuka n'okubazaalira n'abandi okubafumbirwa nga waliwo ebintu bye babuusizza amaaso.

Wammanga bye bintu ebikulu abawala bye bateekeddwa okumanya ku musajja. Omulimu gw'akola Si kyamagezi kuyingira mu mukwano na musajja gw'otamanyi ky'akola.

Kirungi n'omanya omulimu gwe, obudde bw'akola ne kalonda omulala ne kikuyamba okwetegeka obulungi.

2-Omuziro gwe Wano mu Buganda kizira abantu b’omuziro ogumu okufumbiriganwa. Kuno kwe tugatta n’ow’omuziro gwa nnyonko nagwo togufumbirwa.Noolwekyo bino sooke obimanye.

3-Abaana b'abalina Nga tonnagenda wala na musajja mu nsonga za mukwano, kirungi n'omanya ku baana b'alina, abantu b'abeera nabo awaka wamu n'obuvunaanyizibwa obulala.

Waliwo abasajja abalina abantu abayinza okukumalako emirembe ne bakulemesa obufumbo.

4-Ekigendererwa kye mu mukwano Abasajja abamu tebaagala bufumbo wabula baba n'ebigendererwa ebirala omuli okucakala, okulya ku bakazi ssente n'okufuna abababeesabeesa ab'ekiseera.

Kino kitegeeza nti bw'ofuna omusajja alina ekigendererwa ekitali kya bufumbo oba otomedde.

5-Ebintu by'akozesa Abasajja abanywa omwenge, okufuuweeta ssigala n’enjaga bangi. Mu mbeera eno waliwo abakazi bye bimalako emirembe sso nga abamu tebakirinaamu buzibu bwonna.

Kirungi n'okola okunoonyereza ku nsonga eno nga temunnagenda wala. 6-Ebimumalako ekiwubaalo Mu kiseera kino abasajja balina ebintu eby'enjawulo ebirya obwongo.

Mu bino mulimu omupiira, mmotoka z'empaka, beetingi n'ebirala. Kirungi n'obimanya era ne mwogera ne ku ngeri y'okubiyingiza mu mukwano gwammwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda