TOP

Ntya okwegatta

By Musasi wa Bukedde

Added 28th April 2016

NJAGALA kwegatta naye sikikolangako.

Newsengalogob 703x422

NJAGALA kwegatta naye sikikolangako. Nnina emyaka 17. Siirumizibwe nnyo?

Mwana wange, omulundi ogusooka abawala bangi bafuna obulumi naye tebubeera bwa maanyi okuggyako nga tonnaweza myaka 18.

Ekirala mwana wange, okusinga obulumi abawala babufuna kubanga obukyala buba buto nga tebulina lasitiika bulungi.

Abamu baba beeraliikirira okufuna embuto n’akawuka ka siriimu. Oluusi n’ensonyi ng’ekintu ky’okola tokyagala wabula ng’okikola kusanyusa munno. N’abakyala abakulu bafuna obulumi nga beegatta naddala nga tafunye bwagazi.

Naye mwana wange, kambuuze ddala oyagala okwegatta oba okikola kubanga omulenzi ayagala mwegatte? Tonnaweza myaka 18, kale tonnatuusa kwegatta.

Naye bw’oliba otuusizza, jjukira nti mu kwegatta oyinza okufunirayo olubuto lw’oteeyagalidde n’endwadde z’ekikaba omuli ne siriimu. Olina okwegatta ng’otuusizza ekiseera ekirabirira omwana anaava mu kwegatta.

Ate bw’oba okyasoma, kimanye nti bino bijja kukuttira emisomo gyo. Buli ky’okola osookanga n’olaba akabi n’akalungi akalimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.