TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okutuuma omwana erinnya kye kitutabudde

Okutuuma omwana erinnya kye kitutabudde

By Musasi wa Bukedde

Added 28th April 2016

Taata yayagala nnyo omuwala ono asiramuke oba kale aweebwe erinnya ly’Ekisiraamu tusobole okukuza abaana abatya Allah. Mu buutufu nafuba nga bwe nsobola ku nsonga eno kyokka munnange ne yeerema.

Mutebilinnya 703x422

Mutebi

NALI mmanyi nti omwana aliwo kugatta bazadde n’okuggumiza omukwano kyokka ffe olwafuna omwana ate okumutuuma erinnya ne kutwawukanya.

Nze Ibrahim Mutebi gwe baakazaako erya Bobcat. Mbeera Makerere mu Kampala. Mu 2013 bwe nali nkyadde ewa mukulu wange e Wakiso, gye nasisinkana omuwala eyansiima.

Mu kiseera ekyo nali muvubuka muto alabika ssente ate omulungi era kye kimu ku byamukuba. Ensonga twaziyingizaamu mukulu wange naye n’akisiima ekyasobozesa omukwano gwaffe okukwajja.

Twakola enteekateeka z’okutwala ensonga eno mu bazadde baffe olwo ne tutandika obufumbo. Omuwala ono yali mugoberezi wa Kristo ate nga nze nzaalibwa mu maka Masiraamu amagundiivu.

Taata yayagala nnyo omuwala ono asiramuke oba kale aweebwe erinnya ly’Ekisiraamu tusobole okukuza abaana abatya Allah. Mu buutufu nafuba nga bwe nsobola ku nsonga eno kyokka munnange ne yeerema.

Ebyo nabivaako kubanga munnange namufuna nkimanyi nti si Musiraamu. Bwe twafuna ezzadde, Katonda yatuwa muwala. Essanyu kata linzite naye lyali lya kiyita mu luggya kubanga waabalukawo olutalo lw’erinnya ly’eddiini lye tutuuma omwana.

Nalwana ne bigaana okukkakkana ng’omukazi ampangudde n’atuuma omwana erinnya ly’eddiini ye. Nategeezaako ku bakulu bange nga tufunye obutakkaanya ku mannya g’omwana. Bano baakikkaatiriza nti omwana ateekwa kuweebwa mannya ag’ekika kyaffe n’eddiini.

Bino nabinnyonnyola omukazi byonna n’abigaana ng’agamba nti omwana yafaanana jjajjaawe nga y’ensonga lwaki yamutuuma amannya ag’ewaabwe. Nalaba ensonga zirinnye enkandaggo nga n’emirembe gitandise okunzigwako, ne mmulagira agira agenda ewaabwe. Nabirowoozaamu nti n’omwana ono ayinza obutaba wange ng’omukazi ambuzaabuza.

BAMUWADDE AMAGEZI:

Irene Nabukeera omuwabuzi ku nsonga z’abantu ng’akola ku lw’e Salaama agamba: “Ekirungi wamugamba agira akuviira yeetereeze. Kino kitegeeza nti munno okyamwagala. Kati nkusaba ogende gye yaddukira omukimeyo kuba si kirungi mukyala kunoba nga bw’akomawo.

Asobola okutomera n’akomawo n’ebirwadde. Gira okomyewo omukyala kubanga kkooti y’amaka kye kisenge. N’ekirala, osanga omukyala mutuufu ku lw’omwana.

Omanyi ffe abakyala tucamuukirira nnyo ku lw’amabujje naddala ng’omwana muwala. Nsuubira tekizira mukyala kutuuma mwana muwala mannya g’ewaabwe ssinga aba ayagadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Mukolerer obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...