TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja gwe naganza nga baze afudde yansiiga obulwadde

Omusajja gwe naganza nga baze afudde yansiiga obulwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2016

Oluvannyuma lw’ekiseera, omukazi eyali omulamu natandika okunafuwa olw’okulumbibwa endwadde eziwera. Omusujja, embiro n’obulwadde obulala bwanzingako.

Nabatanzi1 703x422

Nabatanzi

 BAZE yanfaako mu 1995 n’andeka mu maka n’abaana bange. Nze Eriosi Nabatanzi, 69 mbeera Luwunga mu ggombolola y’e Kakiri mu Wakiso.

Nazaalibwa Kangavve, Nakaseke era eno gye nava okufumbirwa e Luwunga.  Mu kiseera baze we yafiira nali nkyali muto era eno y’ensonga lwaki nafunayo omusajja omulala.

Ono saamufumbirwa wabula nagendanga bugenzi wuwe. Twayagalanira akabanga okutuusa lwe yafa mu 2002. Mu butuufu saamanya kyamutta bwentyo ne ngenda mu maaso n’okukuza abaana bange.  

Oluvannyuma lw’ekiseera, omukazi eyali omulamu natandika okunafuwa olw’okulumbibwa endwadde eziwera. Omusujja, embiro n’obulwadde obulala bwanzingako.

Nagenda mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanjabi kyokka ne sifunawo njawulo.  Oluvannyuma nga ndaba embeera egaanyi, nagendako mu ddwaaliro ly’obwannakyewa erya SOS e Kakiri gye banzigyirako omusaayi.

Eno gye baazuulira ng’embeera eno bwe yali eva ku kawuka ka siriimu.  Nasooka ne ntya nnyo kyokka oluvannyuma ne nguma olw’obuvunaanyizibwa naddala obw’okukuza abaana bwe nali nneetisse.

Eno y’ensonga   lwaki nakkiriza okutandika amangu obujjanjabi bw’obulwadde buno. Natandikira ku ‘septrine’ n’oluvannyuma ARVS era bino binnyambye nnyo okunkuumira mu bulamu.

Wabula okuva emabega mbadde nkola bulungi emirimu gyange wabula ennaku zino ndowooza olw’emyaka obulamu bunafunye nnyo.

Sikyayagala kulya, nsiiyibwa omubiri nga n’omubiri munafu. Wabula mu mbeera eno nneebaza abaana bange abakoze omulimu gw’okunzijanjaba era muli ndowooza nti singa si baana osanga nnandibadde siriiwo.

Bwe wabaawo alina amagezi g’ampa ku nsonga y’obulamu bwange ndi ku ssimu: 0774012154.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta