TOP

Taata w’abaana awera kunzita

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2016

Nandyagadde okumuviira ntaase obulamu bwange kyokka ekisinga okunnyiiza, talina ky’ampa kye nnyinza kutandikirako okusobola okwerabirira n’abaana bange.

Nabukenya1 703x422

Nabukenya n'omu ku baana be

KYEWUUNYISA okulaba ng’omuntu eyakukwana mu mirembe ate akwefuulira n’ayagala okukutta. Nze Rachael Nabukenya nga mbeera Mutundwe.

Nsazeewo okutwala baze, Godfrey Akampulira ku poliisi entaase. Kino nkikoze lwakuba baze ayagala kunzita ng’agamba nti nnemedde mu maka ge.

Nafumbirwa Akampulira emyaka etaano egiyise, ne mmuzaalira abaana babiri. We twazaalira twali mu mukwano omuzibu wabula omwaka oguwedde omwami yakyuka.

Buli lwe yakomangawo awaka yatuukiranga mu kuyomba oluusi ng’ayomba n’awatali nsonga. Gye byaggweera ng’andagira mmuviire mu maka ge kubanga ye ankooye!

Baze abadde takyatulabirira bulungi kyokka nga bino nabigumira nga njagala nkuze abaana bange. Wabula eky’okungoba kinkubye wala ate nga mpulira nti baze alinayo omukyala omugole gw’apepeya naye.

Saamanya nti omukwano omungi gwe twalina ne baze gulituuka ne guseebengerera era ne guggweerawo ddala. Okumanya guweddewo, kati buli lw’adda awaka ansuubiza okunzita ssinga simuviira.

Nandyagadde okumuviira ntaase obulamu bwange kyokka ekisinga okunnyiiza, talina ky’ampa kye nnyinza kutandikirako okusobola okwerabirira n’abaana bange.

AKAMPULIRA TUMUNOONYA: Akola ku nsonga z’amaka ku poliisi e Mutundwe, Edith Kimera agamba nti: “Abasajja basusse okulagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe.

Ku poliisi e Mutundwe tufuna emisango egitakka wansi w’etaano buli lunaku nga gikwata ku basajja kusuulawo bakyala n’abaana baabwe.

Abakyala mbawa amagezi, muloopenga ebikolwa byonna eby’okutulugunyizibwa mu mbuga z’amateeka musobole okuyambibwa. Akampulira tumunoonya tumukake okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Omusango guli ku fayiro SD: 43/28/04/2016 ku poliisi e Mutundwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...