TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eddagala linnyambye okudda mu mbeera

Eddagala linnyambye okudda mu mbeera

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2016

Natandikira ku septrine n’oluvannyuma ARVS. Omusajja eyali aweddemu essuubi, obulamu bwatandika okudda ne batuuka n’okunsiibula ku kitanda ne nzira eka.

Sekagya 703x422

Ssekagya

OMWAKA gwa 2015 gwali muzibu nnyo mu bulamu bwange. Nze Dezideriyo Sekagya, 58 mbeera Naluvule mu Wakiso kyokka ndi ddereeva wa takisi ku siteegi y’e Namungoona-Kasubi ku luguudo lw’e Hoima.

Mu kusooka nali musajja mulamu bulungi ataaliko kamogo. Naye mu 2015 nalumbibwa ekifuba ekitaali kya bulijjo.

Kuno kwegattibwako obulumi bw’amagulu wamu ne kammunguluze wamma obulamu ne bunkaayira.

Oluvannyuma lw’ebbanga nga ndaba embeera ekalubye naddukira mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi. Wabula olw’embeera embi gye nalimu, abasawo mu ddwaaliro e Wakiso baawalizibwa okumpa ekitanda ne banteekako amacupa.

Mu mbeera eno nali sirya, soogera era nga ndi mu mbeera mbi gye namalamu emyezi etaano. Olw’embeera, abantu abandabako baatuuka ku ssa ly’okumbika.

Abooluganda lwange baalowooza ne ku ky’okunziza mu kyalo nfiire eyo. Mu mbeera eno abasawo baawalirizibwa okunzigyako omusaayi era ne bazuula nga nnina akawuka ka siriimu.

Mu kiseera kye kimu banzuulamu obulwadde bw’akafuba. Ekirungi banteeka mangu ku bujjanjabi bwa siriimu n’akafuba.

Natandikira ku septrine n’oluvannyuma ARVS. Omusajja eyali aweddemu essuubi, obulamu bwatandika okudda ne batuuka n’okunsiibula ku kitanda ne nzira eka.

Eddagala linnyambye nnyo kubanga okuva olwo siddangamu kufuna nkenyera yonna. Naddayo ku mirimu gyange okusobola okweyimirizaawo.

Wabula ekinkaluubiriza ennyo mu kiseera kino kwe kukeera ennyo mu mpewo. Buli lwe nkeera ennyo nfuna obuzibu ku bulamu bwange.

Mu ngeri endala, sirina takisi ya nkalakkalira, nvuga kibaluwa. Bwe wabaayo alina engeri gy’ayinza okunnyambamu ndi ku ssimu: 0776363011

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...