TOP

Emiggo gyangoba mu bufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2016

Emiggo gyangoba mu bufumbo

Se1 703x422

OMUSAJJA gwe nasookerako yannema lwa kunkubanga miggo ne nfaananako omwana gw’azaala. Nze Safiina Nakalema, mbeera Kawanda. Omusajja ono eyandabya ennaku bakadde bange be baamundabira nga nkyabeera nabo e Kibibi mu 1995. Mu kiseera ekyo nali mbeera ne jjajjange nga nnina emyaka 15. Omusajja gwe banfunira yali ansingako emyaka 10, nga ye alina 25.

Twawoowebwa era omukolo gwatambula bulungi kuba buli kimu ekisanyusa ku mukolo kyaliko omwali endongo, abazinyi n’ebirala. Baze yantwala mu maka ge agasangibwa e Kitimba mu Butambala ne ntandika okumuboobereza ettooke.

Embeera mu kusooka yali nnungi nga yeeyagaza kuba ab’ekika ky’omusajja baali banjagala okuzaama. Wabula nga bwe bagamba nti ‘ssebusiru buto, obugole abuyita buganzi,’ nange essanyu lye nalozaako lyali lya kiyitamuluggya.

Omusajja yakyusa embeera ze n’atandika okweyisa nga bw’alaba. Awaka ebiseera ebisinga ng’ayingira matumbibudde ate ng’atuukira mu kuyomba na kuntulugunya. Mu kiseera ekyo awaka twali tetulina ssigiri nga tufumbira ku nku. Olumu bwe yakomangawo awaka nga ky’asooka okunsaba kwe kumufumbira amazzi.

Guno yagufuula muze nga ne bw’akomawo ku ssaawa 8.00 ez’ekiro ng’anfulumya mu nzikiza mmufumbire amazzi! Okumanya baze yali mujoozi, amazzi nga bwe gaba tegayidde nga bw’ayagala ng’andirika emiggo ng’eno bw’anfulumya ebweru nzireyo ngafumbe gaggye nga ye bw’ayagala.

Embeera yeeyongera okutabuka ng’olumu ansuza wabweru olw’obusonga omutali nsa. Embeera eno nagimalamu emyaka 4 miramba nga nfumbira ku bugubi. Ensonga twazituulamu enfunda eziwera ne bakadde be kuba baali ku muliraano naye ne bigaana.

Lumu yampandiikira ebbaluwa eyali entegeeza nga bw’ampadde Talaka. Olwagifuna, najaganya era saasibamu. Nasibamu ebyange ne mmuviira ne nzirayo ewaffe. Ekyannyamba, omusajja ono kalibujoozi nali simuzaalidde era enkolagana yaffe awo we yakoma ne ntandika obulamu obupya era sejjusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda