TOP

Omusajja yantama lwa bwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Omusajja yantama lwa bwenzi

Nyo1 703x422

Namazzi

OMUSAJJA gwe nasookerako yannema lwa bwenzi. Nze Betty Namazzi. Mbeera Kawempe. Twatandika obufumbo mu 1998 ng’omukwano gw’ewala gutukeese. Baze yali musajja muzimbi nga tubeera naye mu maka gaffe agasangibwa e Kawempe.

Entandikwa y’obufumbo bwaffe yali nnungi kuba omusajja yali yeeyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era nga tanjuza mu bintu ebisinga obungi.

Waayitawo emyaka ebiri n’akyusa embeera ze. Nga bw’akomawo awaka atuukira mu kuyomba nga n’obuvunaanyizibwa bw’awaka yabusuulawo nga takyagula wadde emmere. Ebiseera ebimu yakomangawo matumbibudde newankubadde nga ku mulimu yali anyukayo ng’obudde bukyali. Emyaka ebiri miramba gyaggwaako nga nfumbira ku bugubi.

Ekyannyamba bino byonna okugenda okubeerawo twali tetunnazaala baana. Natandika okunoonyereza ku kyali kivuddeko omusajja okukyusa embeera ze okutuusa bwe nakizuula nga yali yenyigira mu bikolwa eby’obwenzi.

Nagezaako okusala amagezi okutereeza embeera ne nsoberwa kuba ewaffe yali takyalangayo era nga tebamumanyi mu butongole. Lwali lumu, yali agenze ku mulimu ne wabaawo omu ku baali baganzi be eyasula awaka omulambo gw’omwana eyali yaakazaalibwa.

Omusajja bwe yafuna amawulire teyaddamu kulabikako.Wiiki yonna yaggwaako nga talabiseeko okutuusa ab"ewaabwe bwe baakima omulambo ne bagutwala okuguziika e Bugerere gye bamuzaala. Embeera yampitirirako ne

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...