TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebizza enkolagana wakati wa nnyazaala ne mukaamwana

Ebizza enkolagana wakati wa nnyazaala ne mukaamwana

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

Olumu bannyazaala bayitiriza amateeka mu maka ga batabani baabwe omuli okukaka mukaamwana okuzaala, nga bw’alemwa oba bw’alwawo atandika okumusojja n’ekivaamu z’entalo.

Inlaw1 703x422

Nalukwago (ku ddyo) ne mukamwana we, Rose Nambaje.

ENJOGERA egamba nti ‘Okusanga nnyazaala nsanga amalaalo’ abakazi bangi abagikozesa. Kino kiva ku ngeri abakadde abazaala abaami baabwe gye beeyisaamu naddala bwe baba tebasiimye bakazi ba batabani baabwe.

Fred Magala ow’omu Kampala agamba nti enjawukana wakati wa nnyazaala ne mukamwana ennaku zino ziva mu maka gy’oggye omuwala.

“Okugeza ssinga omuwala akula alaba enjawukana wakati wa nnyina ne jjajjaawe omukazi azaala kitaawe, nga tebalima kambugu, bw’afumbirwa agenda n’endowooza eyo, era ne bw’asanga nga nnyazaala we talina mutawaana bayinza obutakwatagana.”

 ano abaagalana baasangiddwa mu bbaala ya mnesia nga balya obulamu Bano abaagalana baasangiddwa mu bbaala ya Amnesia nga balya obulamu.

 

Kigambibwa nti bakadde b’omulenzi baagaanibwanga okuwerekerako mutabani waabwe ng’agenda okwanjulwa kubanga abazadde bano baabanga bawulira bubi naddala maama w’omulenzi olw’ebintu mutabani we by’abadde amuwa nga kati bigenda kutandika kuweebwa mukazi gw’awasizza. Oluusi entalo zino ziva ku ngeri omusajja gy’ayisaamu abantu beewaabwe.

Bw’aba abayisaamu amaaso, n’omukazi gw’awasizza naye ajja kutandika okubayisaamu amaaso. Omusajja bw’abeera n’omukwano omungi eri mukazi we kino oluusi kireetawo obukyayi wakati wa nnyina ne mukazi we anti buli kalungi omusajja aba akawa mukazi we, so nga yandibadde nnyina amuwa.

Olumu bannyazaala bayitiriza amateeka mu maka ga batabani baabwe omuli okukaka mukaamwana okuzaala, nga bw’alemwa oba bw’alwawo atandika okumusojja n’ekivaamu z’entalo.

ENTALO ZINO ZIGGWAAWO ZITYA;

1 Weewale okwemalamu ne nnyazaalawo wamu n’abantu ba balo. Buli lw’oyitiriza okweyabiza abantu bano batuuka ekiseera ne bakuggya emize, so nga bw’obabeera ewala bayinza obutakumanya nnyo.

2 Weewale ennyombo wakati wo ne balo kubanga bw’anaakuloopa ewa nnyina ne baganda be, olwo obuzibu buba bukujjidde. Wabula ate n’omusajja weewale okubuulira abantu bo buli ekigwa mu maka go, okuggyako ng’ensonga bonna bateekeddwa okugimanya.

3 Tekyandibadde kya magezi nnyazaala ne baganda b’omulenzi okukyalakyala mu maka ga mutabani wammwe okwewala ennyombo.

4 Omuwala totangira balo kuyamba beewaabwe ssinga baba bamutuukiridde. Naye era nammwe mwewale okusabiriza ekisukkiridde.

5 Omuwala weewale emboozi esukkiridde ne nnyazaala. Si kibi kunyumya, naye kulina kuba kwa kigero okwewala okusaagirira okusukkiridde nga muno muyinza okuggyamu ennyombo.

6 Weewale okwenyigira mu byawongo ng’oli mu maka go kuba ssinga nnyazaala wo ne balamu bo babimanya buli kizibu ekinaatuuka mu maka go bajja kumanya nti ggwe okireese.

ENGERI NNYAZAALA GY’ALINA OKWEYISAAMU ERI MUKAMWANA;

Cate Kiwanuka ow’omu Kampala agamba nti nnyazaala alina okwewala okuyomba ne mukamwana kuba abeera muwala we.

Talina kulingiriza bifa mu nnyumba ya mutabani we wadde okuyingira mu kisenge kubanga kiba kya mukazi na baana be. Talina kulingiriza byanfuna bya mu maka ga mutabani we kubanga kiyinza okuleeta okutabuka ne mukaamwana we.

Margaret Nalukwago ow’e Bulaga agamba nti nnyazaala alina okufaayo ennyo okuyigiriza mukaamwana we emirimu bw’aba tagimanyi mu kifo ky’okumusala ensobi.

Alina okumulaga okwagala nga kw’alaga mutabani we okw’ekizadde. Nalukwago agamba nti mukaamwana olina okumwagala kubanga aba yafumbirwa mutabani wo, era gy’okoma okumwagala gy’akoma okwagala mutabani wo.

Agattako nti alina okumugulirayo ku birabo, okumufaako mu kiseera ng’ali lubuto era nga yaakazaala. Alina okwagala bazzukulu be kubanga kizzaamu mukaamwana amaanyi n’ayongera okumugondera wamu n’okumwagalira ddala.

Alina okumusomesa empisa bw’aba teyakuzibwa bulungi n’amuyigiriza engeri gy’alina okweyisaamu mu bantu. Wabula kino alina okukikola n’obwegendereza Ku nnaku enkulu nnyazaala ayinza okuyita mukamwana ne baliira wamu olunaku. Kino kyongera okussaawo enkolagana wakati waabwe.

 

ENGERI MUKAMWANA GY’ALINA OKWEYISAAMU ERI NNYAZAALA WE:

Kiwanuka agamba nti mukamwana alina okuwa nnyazaala we ekitiibwa kubanga abeera nnyina. Alina okubeera omukkakkamu nga ne bw’amunyiiza omusonyiwa.

Alina okumuyambako ku mirimu naddala ng’amukyalidde oba nga babeera ku kyalo kye kimu. Carol Nansikombi, 65 omutuuze w’e Busega Kibumbiro agamba nti mukaamwana we tamuwa kitiibwa, amucokooza n’amukolako olutalo.

Agamba nti entandikwa y’okuyomba ne mukamwana yava ku mutabani we, Charles Ssekuuya, eyazimba ennyumba okumuliraana.

Agamba nti bba bwe yafa yabalekera poloti esangibwa e Busega Kibumbiro era mutabani we n’azimbako ennyumba okumuliraana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?