TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obulamu bwange buyimiridde ku ddagala

Obulamu bwange buyimiridde ku ddagala

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2016

NZE Faisi Nakanwagi, 54 mbeera Nansana. Waliwo omusajja eyaliko muganzi wange okumala ekiseera kyokka oluvannyuma n’afa.

Dagala 703x422

NZE Faisi Nakanwagi, 54 mbeera Nansana. Waliwo omusajja eyaliko muganzi wange okumala ekiseera kyokka oluvannyuma n’afa.

Saali mumativu na kyamutta kyokka nagenda mu maaso n’obulamu bwange. Wabula mu 2015, natandika okunafuwa mu mbeera z’obulamu bwange.

Nalumbibwa omusujja ogwa buli kadde n’obulwadde obulala obwanzingako okumala akaseera.

Embeera eno yampaliriza okuddukira mu ddwaaliro okwebuuza ku kyali kimmazeeko emirembe.Abasawo banzigyako omusaayi era oluvannyuma ne bantegeeza nga bwe nnina akawuka ka siriimu.

Baηηumya nti okuba n’obulwadde tekitegeeza kufa. Bantegeeza nti okuba omulamu nteekeddwa okubeera ku ddagala ly’obulwadde buno n’okugoberera amateeka g’abasawo.

Nakkiriza byonna ebyaηηambibwa era eno y’ensonga lwaki okuva lwennatandika eddagala obulamu obwali bunafuye bwakomawo.

Omusujja ogwali ogwa buli lunaku gwasenguka mu mubiri gwange era okutwaliza awamu mu kiseera kino sirina wannuma.

Eno y’ensonga lwaki nsobola okwekolera emirimu gyange mwe nzigya akasente akannyimirizaawo.

Kye nkubiriza abantu bonna abasangibwa n’obulwadde buno bwe butaggwaamu ssuubi wabula okuddukira mu basawo babalage engeri y’okutwala obulamu mu maaso. Ekituufu kiri nti eddagala lino obulamu bw’omulwadde kwe butambulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu